TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Kinene gy'amaze emyaka 2 mu kkomera ku misango gy'atazza

Engeri Kinene gy'amaze emyaka 2 mu kkomera ku misango gy'atazza

Added 28th August 2019

Engeri Kinene gy’amaze emyaka 2 mu kkomera ku misango gy’atazza

 Omuserikale w’amakomera ng’aggya empingu ku Sheikh Fahad Kalungi ne Sheikh Siraje Kawooya.

Omuserikale w’amakomera ng’aggya empingu ku Sheikh Fahad Kalungi ne Sheikh Siraje Kawooya.

AMIRU Kinene ayimbuddwa oluvannyuma lw'emyaka ebiri mu kkomera e Luzira. Ono y'omu ku Basiraamu poliisi be yakwata nga kigambibwa nti emmotoka ze zaali zikozesebwa okutumbula ebikolwa by'obutujju.

Yasooka kuteekebwa mu kibinja ky'Abasiraamu abalala okwali; Hajjati Aisha Nakasibante naye oluvannyuma baamugatta ku kibinja kya Sheikh Muhammed Yunus Kamoga oludda lwa gavumenti oluwaabi ne lumuggulako omusango gw'obutujju, okutta Abasiraamu n'okutiisatiisa okutta kyokka nga August 22, 2017 kkooti n'emuggyako emisango gyonna.

Mu kifo ky'okumuzza awaka ab'amakomera baamuzzaayo e Luzira era akulunguddeyo emyaka emirala ebiri nga talina musango gwonna gumuvunaanibwa kyokka nga bamukuuma butiribiri mu kkomera.

Omukisa gwe gwavudde ku gavumenti kujulira ng'ewakanya eky'okwejjeereza Sheikh Kamoga n'abalala ku musango gw'okutta Abasiraamu banne era looya wa gavumenti Baine n'ategeeza nti balemeddwa okumuwa empapula ezimuyita kubanga bawulira nti ali mu kkomera.

Balooya be okwabadde; Fred Muwema baategeezezza kkooti nti Kinene talina musango naye nabo tebamanyi lwaki ab'e Luzira bakyamulemedde ekyawalirizza kkooti okulagira akulira Upper Prison (gye basibira abali ku misango gya nnaggomola) ajje annyonnyole ebikwata ku Kinene.

Moses Ssentalo yagambye kkooti ejulirwamu nti Kinene bamulina mu mateeka era yazze n'ebiwandiiko byonna ebikakasa. Yagambye nti; Twafuna Kinene nga January 22, 2015 okuva ku kkooti e Nakawa bwe yali avunaaniddwa emisango etaano okwali egy'obutujju n'okugezaako okutta abalala.

Nga January 10, 2015 okunoonyereza ku fayiro eno 03/2015 kwaggwa era n'aweerezebwa mu Kkooti Enkulu ne Basiraamu banne okwali Kamoga, okutuusa nga August 22, 2017 kkooti bwe yamwejjeereza emisango gino.

Twali tetusobola kumuta kubanga waliwo omusango omulala mu February 2015 ogw'okuyamba okutumbula ebikolwa by'obutujju ogwamuggulwako era okunoonyereza kwonna ne kuggwa n'aweerezebwa ne mu Kkooti Enkulu atandike okwewozaako. Ssentalo olwamaze okwogera, looya wa gavumenti Lillian Omara yasituse n'ategeeza kkooti nti kirabika waaliwo okubuzaabuzibwa mu fayiro.

Yagambye nti tebalina musango gwonna gwe balina ku Kinene era mu kkomera abaddeyo mu bukyamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...