TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaaliro ly'e Kayunga baagala basawo abajjanjaba ebiwanga

Eddwaaliro ly'e Kayunga baagala basawo abajjanjaba ebiwanga

Added 28th August 2019

Pkunoonyereza kulaga ng’abalina endwadde y'ekiwanga bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo bagijjanjaba. Ezimu ku ndwadde z’ekiwanga kuliko obutawulira, okuziyira, okufuluuta¸obutawunyiriza, okulumizibwa mu mimiro, okulumizibwa omutwe ogw’olutentezi, ekibobe, okuva amasira mu matu n’ebirala

 Abasawo nga bagabira abalwadde eddagala.

Abasawo nga bagabira abalwadde eddagala.

ABASAWO mu ddwaaliro ly'e Kayunga basabye gavumenti okuteeka abasawo abaakuguka mu biwanga mu malwaliro gaayo okujjanjaba abalina ebirwadde by'ebiwanga.

Bino byayogeddwa  Dr.  Asaph Tomusange  omukugu  mu kujjanjaba endwadde z'ebiwanga mu ddwaaliro e Kayunga.  Yasinzidde   ku ddwaaliro ly'e Busaana Health Centre III mu disitulikiti y'e Kayunga gye bajjanjabidde  endwadde z'ebiwanga ku bwereere  ng'ali wamu n'abasawo b'e Mulago .

Tomusange yategeezezza nti okunoonyereza kulaga ng'abalina endwadde eno bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo bagijjanjaba.  Ezimu ku ndwadde z'ekiwanga kuliko obutawulira, okuziyira, okufuluuta¸obutawunyiriza, okulumizibwa mu mimiro, okulumizibwa omutwe ogw'olutentezi, ekibobe, okuva amasira mu matu n'ebirala.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'okukizuula nti balina obuzibu buno yatandika kaweefube w'okunoonya abazirakisa ne bamuwa eddagala ly'ekiwanga ly'akozesa  mu kujjangaba  abalwadde b'ekiwanga mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo .

 "Abantu bamufuna mpola balina ebirwadde by'ebyekiwanga naye tebalina bujjanjabi kuba mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjjaba. Tusaba minisitule y'ebyobulamu  etunule mu nsonga eno," Tomusange bwe yategeezezza

Abatuuze b'e Busaana n'ebyalo ebiriranyeewo bajjanjabiddwa endwadde ez'enjawulo nga n'abakyala baakebeddwa kansa wa nnabaana, okukomola n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...