TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y'amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y'amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

Added 28th August 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y’amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

 Nyanzi ng’afukirira amamera, waggulu (ku ddyo), y’ensaano gy’akola mu mamera n’agitunda.

Nyanzi ng’afukirira amamera, waggulu (ku ddyo), y’ensaano gy’akola mu mamera n’agitunda.

GYE buvuddeko nakulaga engeri gy'oyinza okukolamu amamera n'ofuna ssente ate ng'ogakoledde waka mu kifo ekifunda. Era bangi baatandika okugakola era ngabagulako mu bungi bwonna bwe balina era nkyagagula. Osobola okukola amamera n'ofuna emitwalo 40 omwezi, ekitegeeza nti, eyo nyongereza nnene ku nnyingiza yo ate akatale weekali.

Ekirungi ekigaliko osobola okugakola mu buli nsigo gamba nga kasooli, ebijanjaalo, omuwemba, obulo n'endala. Atagamanyi, gwe mutunsi ogusooka okuvaayo mu nsigo y'ekirime era gwe gukola omulandira. Leero kankulage ku migaso gy'Amamera egy'ebyobulamu nga giva mu nsaano y'amamera.

1 Abantu abatawaanyizibwa amaaso oluusi nga kiva ku sukaali oba endya embi, ebinywa ne bikakanyala oba oluusi ng'omuntu talina kirungo kya vitamiini A ekibaleetera ekifu ku maaso. Kozesa pawuda w'Amamera ng'oteeka akagiiko kamu ku mazzi agabuguma n'onywa.

2 Omuntu agugumuka ekiro oba atafuna tulo ensaano y'amamera ekuyamba okukkakkana ne weebaka bulungi ate jjukira ssinga teweebaka bulungi kikuviraako okulwala. 3 Alimu ‘iron' ayamba ku balwadde ba siikoseero. Jjukira abalwadde ba siikoseero bafuna obuzibu n'omusaayi wabula amamera gabayamba okuban'omusaayi ogumala ne batafuna bulumi naddala mu biseera eby'obutiti.

4 Gayamba abakyala obutaggwaamu musaayi naddala nga bazaala oba nga bali mu nsonga.

5 Alimu ekirungo kya Vitamiini K, ekiyamba ku bakyala obutavaamu mbuto n'obutalwa mu nsonga. Teeka obugiiko bubiri Emboozi z'omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch ensaano y'amamera eyamba abakyala ab'embuto n'abalwadde ba siikoseero mu mazzi agabuguma onywe.

6 Ayamba okukuumira ekirungo kya ‘Calcium' mu magumba ne kitasaasaana mu misuwa kuba wano aleeta obuyinja mu kawago n'ensigo.

7 Era ayamba omuntu obutafuna kukakanyala kwa misuwa ekimuyamba okukuuma omutima n'obwongo nga biramu bulungi, kubanga ‘calcium' aba asigadde mu magumba.

8 Malungi ku bakyala ab'embuto anti abayamba obutazaala baana baliko bulemu kubanga galimu ‘folic acid' ow'obutonde. Okugeza obutazaala mwana aliko kituli ku mutima, omulema n'ebirala. 9 Eyeesiba olubuto, kozesa amamera kubanga galimu ebiguwaguwa ebikuyamba okusumulula olubuto ate lutta n'obuwuka obuleeta alusa n'ekiddukano.

10 Gayamba okwongeza ku buwangaazi bw'omuntu era e Pakistan ne Korea gye bagalya ennyo bawangaala. Kyokka gayamba ne ku balwadde ba siriimu okubazzaamu amaanyi.

11 Amamera malungi eri abatalya bintu birimu hhano. 12 Abalina alaje nammwe gabayamba, okugeza abalina alaje w'ennyama, amata n'ebirala.

13 Gooza omusaayi ne gaggyamu amasavu amabi mu mubiri. Wiiki ejja nja kukulaga engeri gy'oyinza okukola ehhano okuva mu mamera ga doodo.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...