
Kabaka Mutebi ng'akwasibwa densite ye mu Lubiri lwe e Bbanda
Bya Lilian Nalubega
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olunaku lw'eggulo abakungu b'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa n'okugaba densite mu ggwanga ekya NIRA bagenze mu Lubiri lwe e Bbanda ne yeewandiisa era n'aweebwa densite.
Kabaka densite emukwasiddwa kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga, Col. Moses Mwesigwa owa NIRA.

Ng'enteekateeka bw'eba, Ssaabasajja yasooka kujjuza foomu ezisaba okufuna densite n'akubwa ekifaananyi n'okuteeka ekinkumu kye mu kyuma n'oluvannyuma nga bino yabikolera mu Lubiri lwe e Mmengo emabegako okutuusa lwe yasiimye n'emukwasibwa.
Abamu ku beetabye ku mukolo guno okwabadde omumyuka wa Meeya w'e Lubaga, omulangira Asuman Ntale yategeezezza nti, Kabaka ekifaananyi kyamukubirwa Mmengo ng'eno y'ensonga lwaki abakungu ba Lubaga Division baakiikiriddwa ku mukolo guno ogwabadde mu Lubiri e Mmengo.
Abalala abaabadde ku mukolo guno ye, muwandiisi wa Kabaka D.D. Mukiibi, David Ntege David n'abakungu ba NIRA.

Mwesigwa nga yaakamala okukwasa Kabaka Mutebi densite yategeezezza nti, yali yaggwa dda nga yakolebwako mu nnaku bbiri era ne yeebaza Kabaka olw'okusiima ne bagimukwasa.
Yagambye nti, ekikolwa kya Kabaka okufuna densite kyakuwa abantu abalala okuyiga n'okwekubiriza okuzifuna awatali kwekwasa nsonga ndala yonna era n'abakubiriza naddala abatannazifuna okutwala Kabaka nga eky'okulabirako.