TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kazimba alaze by'atandikirako n'asaba obuwagizi

Bp. Kazimba alaze by'atandikirako n'asaba obuwagizi

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu alaze by’agenda okussaako amaanyi amangu ddala ng’atuuziddwa mu ntebe y’Obwassaabalabirizi.

 Ssaabalabirizi omulonde Bp. Kazimba n'Omulabirizi w'e Bukedi Samuel Egesa (ku kkono).

Ssaabalabirizi omulonde Bp. Kazimba n'Omulabirizi w'e Bukedi Samuel Egesa (ku kkono).

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, PONSIANO NSIMBI,SOFIA NALULE ne LUKE KAGIRI
 
SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu alaze by'agenda okussaako amaanyi amangu ddala ng'atuuziddwa mu ntebe y'Obwassaabalabirizi.
 
Yagambye nti bingi ebibadde bikolebwa by'agenda okutwala mu maaso naye nga ekimu ku by'agenda okussaako essira kwe kwongera okubuulira enjiri eryowa omwoyo ate n'ekyusa n'omubiri.
 
Mu mboozi ey'akafubo ne Bukedde nga waakayita olunaku lumu ng'amaze okulangirirwa nga Ssaabalabirizi omuggya, Kazimba yakikkaatirizza nti enjiri ly'ekkubo erisobola okwongera okutebenkeza abantu n'eggwanga.
 
Yawadde ekyokulabirako nti, abantu abamu obulamu babutwala batyo batyo abalala baabulwa dda essuubi naye ssinga omuntu abeera alokose kisobola okumuyambako n'akyusa endaba y'ebintu nga kino kisobola okwongera okubeezaawo Ekkanisa n'eggwanga.
 
Yagambye nti ettemu, obubbi, enguzi weebiri kubanga abantu balina engeri gye balabamu ebintu kubanga tebannasembeza Kristu, naye bwe balokoka bakyusa enneeyisa ne balongoosa mu by'omwoyo n'eby'omubiri.
 
Yagambye nti we yatuukira e Mityana alina ebitundu bye yali yeewuunya ng'alaba abantu engeri gye balabamu buli kintu nzibu nnyo naye bwe bababuulidde enjiri, bangi bagenze bakyusa obulamu ne busobola okutambula.
 
Yagumizza Abakristaayo nti bo ng'abaweereza beetegefu okuweereza kyokka n'asaba abantu okumuwagira ennyo mu buvunaanyizibwa obupya obwamukwasiddwa.
Kazimba waakutuuzibwa mu March w'omwaka ogujja ku Bwassaabalabirizi ng'adda mu bigere bya Rt. Rev. Stanley Ntagali agenda okuweza emyaka 65 mu March w'omwaka ogujja era w'agenda okuwummulira.
 saabalabirizi omulonde p azimba enjiri agibuulira ne mukyala we era agenda kweyongera mu maaso nenkola eno Ssaabalabirizi omulonde Bp. Kazimba enjiri agibuulira ne mukyala we era agenda kweyongera mu maaso n'enkola eno.

 

 
Kazimba yagambye nti ekintu ekirala ky'agenda okussaako amaanyi by'ebyenkulaakulana, okulwanyisa obwavu mu bantu n'okutumbula pulojekiti z'Ekkanisa kubanga enkulaakulana bw'ebeerawo, n'okusaasaanya enjiri mu bantu kwanguwa.
 
Yasabye ab'e Mityana nti by'abadde akola babitwale mu maaso. Yagambye nti bagenze okumulonda nga yaakamala okwongera amaanyi mu kitongole ekibuulira enjiri e Mityana okutalaaga Obulabirizi nga babuulira enjiri kye baavudde bakigulira n'emmotoka empya erina okubatambuza.
 
Rev. Isaac Lubega abadde omuyambi we ali Bulaaya kyokka bwe yabadde agenda e Bulaaya wiiki ewedde yayise Rev. Kansiime akulira ekitongole ekibuulira enjiri okuyambako mu kwongera amaanyi mu kunnyikiza enjiri.
 
Kazimba olwamaze okulangirirwa e Namirembe n'ayolekera e Mityana era yayaniriziddwa mu mizira. Yasimbudde e Namirembe ssaawa nga 8:30 ez'emisana ku Lwokusatu era teyatambulidde mu mmotoka ye eyaabulijjo.
 
Waliwo Omukristaayo eyamuvugidde mu mmotoka ye ey'obwannannyini. Abakristaayo baabadde ne Mukyalawe baamulindidde ku nsalo ya West Buganda ne Mityana e Zigoti we baabadde nga bakuba ehhoma n'okuyimba.
 
Bwe yabadde ayingira e Mityana mu kibuga yasanzeewo abamulindiridde era okuva awo okutuuka ku Lutikko e Namukozi baatambuliddewo kumpi essaawa nnamba. Yakulembeddwa bbandi eyakubye nga n'emmotoka ziseeyeeya okutuuka ku Lutikko awaabadde okusaba okw'okussa ekimu.
 
Okujaganya kwe kumu kwabadde ne mu Bulabirizi bw'e Mukono, Kazimba gy'asibuka era gye yasooka okuweerereza nga tannalondebwa kufuuka Mulabirizi w'e Mityana ng'adda mu bigere bya Dr. Dunstan Bukenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...