TOP

Luzinda alaze ebifudde Kazinda ow'amaanyi

Added 1st September 2019

Luzinda alaze ebifudde Kazinda ow’amaanyi

 Bp. Stephen Kazimba Mugalu

Bp. Stephen Kazimba Mugalu

OMULABIRIZI w'e Mukono eyawummula Bp Eria Paul Luzinda alambuludde ku ngeri Bp. Stephen Kazimba gye yeerandizza n'engeri gye yategekebwa okufuuka munnaddiini ow'amaanyi agasa Ekkanisa n'eggwanga lyonna.

Bp. Luzinda yategeezezza nti Kazimba yasooka kweyolekera mu kuyimba mu kkwaaya y'Ekkanisa y'e Madudu mu 1980 ate n'asalawo okulokoka mu 1984 era mu myaka mitono n'asalawo asome obwawule.

Luzinda yalambuludde bw'ati ku lugendo lwa Kazimba: Yayagala (Kazimba) nnyo okuweereza okuviira ddala mu myaka gye egy'ekivubuka era bwe yaweebwa okufuuka omubuulizi ku Kkanisa ya St. Peter's e Lugazi mu 1985, yasitula embeera z'abavubuka mu kubuulira enjiri ssaako okumanyisa Katonda buli kitundu we yali alaga era mu myaka mitono, n'asalawo agende asome obwawule.

Yava buto nga mumalirivu era eyeewaayo okutuukiriza ekyo ky'aba asazeewo okukola. Wakati wa 1988-1990 bwe yamaliriza okusoma obwawule ku Uganda Martyr's Seminary e Namugongo n'asindikibwa ku busumba bw'e Nakibizzi nga Viika era yakola ebintu buli omu bye yali tasuubira omuli okubuulira enjiri n'okwagazisa abantu okutya Katonda ate ng'abantu bakola by'ababuulira era n'afuuka muganzi nnyo.

Eno abakulu okuli n'Omulabirizi w'e Mukono eyaliko ebiseera ebyo Bp. Micheal Ssennyimba gye baamulabira ne bamuwa obwa Viika mu Lutikko ya St. Phillip and Andrews e Mukono. Mu 2007 nga nze Mulabirizi w'e Mukono, nnalaba obukozi bwa Kazimba era ne kisalwawo tumufuule Canon oluvannyuma ne tumutuma mu Busaabadinkoni bw'e Bugerere.

Olw'okukola kwe mu mbeera y'okumanyisa abantu Katonda, obulabirizi bw'e Mityana mu 2008 bwamulonda ng'Omulabirizi omuggya era ffe abaali mu Bulabirizi bw'e Mukono twamusaalirwa nnyo kyokka ate erudda ne twebaza Katonda.

Luzinda yagambye nti Kazimba yategekebwa bulungi kubanga yayita mu mikono gya bannaddiini ab'amaanyi okuviira ddala ku yali Ssaabalabirizi omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo kw'ossa Abalabirizi okuli Dr. Ssenyimba ne Luzinda abaamuwa omukisa okuweereza n'aggyayo bulungi ekitone kye eky'okubuulira enjiri.

Baamwagazisa n'okwongera okusoma era okukkakkana ng'afunye Ddiguli eyookusatu (PhD) ENGERI GYE BAAMULABAMU OBUWEEREZA Bp. Luzinda yategezezza nti okuviira ddala lwe yatandika okukola ne Kazimba, yamuzuulamu okuyaayaana okw'enjawulo okuweereza Katonda buli kiseera era nabo ne basalawo okwongera okumusomesa ebyawandiikibwa.

Baamuteekanga mu nkiiko z'Obulabirizi ez'enjawulo n'enkuhhaana ekyamuyigiriza bwe baddukanya emirimu gya Katonda ate eky'omukisa, naye n'abiyiga bulungi ne batandika okumulabamu essuubi ery'okufuuka munnaddiini omukuukuutivu.

Bp Luzinda ayongerako nti amazima, obwerufu n'okutabaganya abantu bye bimu ku birabo bye baalaba mu Kazimba nga yaakabeegattako nga n'ekisinga okumwagazisa baweereza banne okuddayo okusoma wadde ng'abamu baali tebakiraba ng'ekikulu.

Annyonnyola nti Kazimba musajja muyivu ayagaliza buli omu ng'akubiriza abaweereza okusoma yakitandikira mu Mukono n'akirandiza n'e Mityana nga kino nakyo kikoze kyamaanyi mu kumulinnyisa amadaala okutuuka ku bwa Ssaabalabirizi. "Kazimba yali mwana muto ku ffe naye ng'ebintu by'akola olabirawo nti Katonda yabimukozesa. Ekikwatagana ne Katonda akikulembeza ku mwanjo era ffe mu kumutendeka twali nga abanazaako obunaza ku birabo Katonda bye yamuwa.

Bwe kyatuuka ku njiri ate ng'agibulira abantu ne bawa obujulizi kye nsuubira nti kati ng'afuuse Ssaabalabirizi bangi b'agenda okukwata ku mukono." Bp Lizinda bwe yakkaatirizza n'alyoka awunzika nti:

Entalo nnyingi ezibaawo mu baweereza naye kino Kazimba tetwakimulabamu era ne bwe yasanganga okusoomoozebwa mu buweereza, ng'afuna engeri gy'akwatamu ensonga ze okulaba ng'asigala akolagana ne baweereza banne okutambuza omulimu gwa Mukama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....