
Adam Namudaala (ku kkono), Shafiq Matovu ne Sharif Gitta abaayimbuddwa. Mu katono Young Mulo
Abateereddwa kuliko; Adam Namudaala ne Shafiq Matovu nga bano baddiridde munnaabwe Sharif Gitta eyasooka okuteebwa wiiki bbiri emabega.
Okuteebwa kw'abantu bano kutabudde abatuuze b'omu Ndeeeba, Kabowa n'ebitundu ebiriraanyeewo, nga beewuunya engeri poliisi eyandikuumye abantu ate okulagajjalira omulimu gwayo n'ebata okulya obutaala.
Abagoba ba bodaboda n'abantu mu bitundu bino baakungaanye ku Lwokutaano okwekalakaasa okw'emirembe nga baagala bagende ewa RCC wa Kampala Faridah Mayanja Mpiima baweeyo okwemulugunya kwabwe ku nsonga eno.
Wabula bano poliisi yabalabuukiridde n'ekwata abantu abawera ne basibwa ku poliisi e Kabowa. Abaabadde basigadde ekire ky'enkuba kye kyabagugumbuludde.
Edmikes Tagoya, ssentebe wa zooni ya Ssembule B, omu ku baabadde bategese okwekalasaasa kuno yagambye nti, ekikolwa ky'okuta abantu bano kibeewuunyisizza kubanga batemu abali mu kabinja ky'abatta abantu ng'okubata, kitegeeza bagenda kutandikira we baakoma okutigomya ekitundu.
Jude Ssembuya (omugoba wa bodaboda e Kabowa): Kitwewuunyisizza abantu bano okuteebwa mu bbanga ettono bwe liti, ate nga baakwatibwa bagezaako kutta muntu.
Namudaala ne banne abaayimbuddwa okuva mu kkomera, baakwatibwa omwezi oguwedde bwe baali bagezaako okutta omuvubuka Robert Ndiika.
Ono baamusiba akandooya ne bamutuga nga balowooza nti afudde, omulambo baagutwala ne bagusuula okumpi n'omwala gwa Nalukolongo Channel e Kabowa.
Abatuuze abaakeera okugenda okukola be baamugwako ne bayita poliisi eyayanguwa okumutuukako, kyokka ne kizuulibwa nti yali akyali mulamu n'atwalibwa e Mulago ng'ono ye yabalonkoma.
Baali bamulanga kuwa poliisi mawulire gakwata ku kabinja kaabwe, omwali n'okulonkoma munnaabwe Mugisha eyakwatibwa ku katambi ng'atuga owa bodaboda e Lubaga ne bamutta ne batwala pikipiki yaabwe.
Oluvannyuma Yanga Mulo naye yakwatibwa. Mugisha okukwatibwa yaggyibwa mu Ndeeba mu kibanda ky'omu ku bano abaayimbuddwa.