TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalabye nga bawamba Nagirinya akaabizza abakungubazi

Eyalabye nga bawamba Nagirinya akaabizza abakungubazi

Added 2nd September 2019

OMUWALA eyabaddewo nga bawamba Maria Nagirinya akaabizza abakungubazi ng’attottola engeri abatemu gye baakutte Maria ne bamukkatira mu mmotoka ne bamutwala gye baamuttidde ne ddereeva we!

Kakazi kattu kaalaajanye nti, "Basajja mmwe temutwala muganda wange…." Ne katuuka n'okwekiika mu maaso g'emmotoka nga bwe kakoonakoona "bboneti" naye abasajja ne basimbula emmotoka nga bagizza emabega, ne baweta ne bafuumuula emmotoka.

Bena Nakidde mu myaka gye emito yabadde muvumu, n'agoba emmotoka ekiro ekyo nga bw'akuba enduulu ng'ayita abantu badduukirire, wabula teri yavudde mu nnyumba okukkakkana nga Maria ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa batwaliddwa abasajja abaabawambidde ku geeti y'amaka Maria w'abadde asula e Lungujja mu Kampala.

Emirambo gyabwe gyazuuliddwa oluvannyuma lw'ennaku bbiri nga gisuuliddwa okumpi n'omugga Nakitutuli mu ggombolola y'e Najja mu Mukono.

Emmotoka ya Maria ye yasoose okuzuulibwa ng'esuuliddwa e Nateete. Kiteeberezebwa nti abatemu baabadde n'emmotoka eyaabwe eyabadde esimbiddwa mu kabanga katono okuva we baawambidde Maria.

Abaamuwambye baakozesezza bodaboda eyabatuusizza ku kikomera kya Maria we baamuteeze ne bamuwamba ng'alinze okumuggulira.

Abeebyokwerinda bateebereza nti abatemu bwe baavuze emmotoka ya Maria baagenze butereevu we baabadde basimbye eyaabwe era ne baggyamu Maria ne ddereeva Kitayimbwa ne babateeka omwo, olwo eya Maria ne bagisuula e Nateete era kino kyakaluubirizza abeebyokwerinda kubanga baasoose kugoberera obuwuufu bw'abatemu nga babwesigamya ku mmotoka ya Maria.

Kitayimbwa eyattiddwa ne Maria abadde avuga bodaboda, kyokka ng'olumu avuga Maria okumuzzaayo eka mu mmotoka naddala nga Maria ava e Nalumunye gy'abadde alina mikwano gye bwe babadde batera okugendako bonna mu bifo ebisanyukirwamu.

Ku mulundi guno Maria yamukubidde n'amutegeeza nti teyeewulira bulungi era n'amuyita amuvugeko amuzzeeyo eka.

Abakungubazi baategeezeddwa nti ku Lwokusatu, Maria yasiiba teyeewulira bulungi era n'asaba mukwano gwe Jane Ndibazza "jaketi" n'agyambala.

Amaziga gaayiise kumpi mu buli mukungubazi eyabadde mu kusabira omwoyo gw'omugenzi eggulo mu Klezia ya St. Peter's e Nsambya nga Bena Nakyejwe muto wa Maria, attottola ebyabaddewo mu kiro ky'Olwokusatu abatemu we baamuwambidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...