TOP

Bakutte 5 ku by'okufa kwa Nagirinya

Added 2nd September 2019

Abaatemudde omuwala Maria Nagirinya ayogedde engeri olukwe gye lwakoleddwaamu bwe baamulondodde okuva e Nalumunye okutuuka ku geeti ewuwe we baamuwambidde e Lungujja.

 Akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo (mu bbulawuzi emmyuufu) nga bamulambuza we baasudde emirambo ogwa Nagirinya ne Kitayimbwa e Mukono. Mu

Akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo (mu bbulawuzi emmyuufu) nga bamulambuza we baasudde emirambo ogwa Nagirinya ne Kitayimbwa e Mukono. Mu

Omusajja ono muvuzi wa bodaboda eyavuze abatemu ababiri kyokka nga naye yabadde mu lukwe.

Alonkomye banne bwe baakoze obutemu era we bwawungeeredde eggulo nga poliisi emaze okukwata abalala bana(bonna awamu yaakakwata bataano). Kyokka omusajja eyabadde mu kikooti ekimyufu agambibwa nti ye yatugidde ddala Nagiriinya tannakwatibwa.

Nagirinya yawambiddwa ku Lwokusatu ekiro ng'ali ne ddereeva eyabadde amuvuga Ssaalongo Ronald Kitayimbwa. Emirambo gyabwe gyazuuliddwa ku Lwokutaano e Nama-Mukono mu kasenyi k'e Nakitutuli.

Owa bodaboda agamba nti Nagiriiya bwe yasimbudde e Nalumunye baagoberedde emmotoka era bwe baakakasizza ng'ajja waka e Lungujja ne bagiyisa ne basimba pikipiki ku Super Market ya Green Apple Fast Foods e Lungujja Community.

Wano baamazeewo ekiseera ng'emmotoka ya Nagirinya tennatuuka. Era kamera ku Super Market zaalaze byonna bye baakoze mu kifo ekyo.

Emmotoka ya Nagirinya bwe yabayiseeko ne balinnya pikipiki ne bagigoberera okutuuka ku geeti we baamusaliddeko.

Abatemu ababiri abaakulidde misoni baalagidde owa bodaboda n'avuga agende abalindire ku kkubo. Era kamera zaamulaze ng'agisimbye ku kkubo ayogerera ku ssimu.

Yategeezezza poliisi nti ku ssimu yabadde ayogera n'abatemu abaabadde mu lukwe era bwe baamutegeezezza nti "vuga ogende tujja olwo naye n'asimbula."

Ebyo okubaawo abatemu baabadde bamaze okuggya Kitayimbwa ku siteeringi ne bamussa mu bbuutu y'emmotoka ate Nagirinya ne bamussa mu mutto emabega. Omutemu eyabadde mu kikooti ekimyufu ye yavuze ate munne n'atuula emabega ne Nagirinya.

Emmotoka okuva awo baagivuze bajja Mengo, kyokka tekinnamanyika wa we baggyidde Nagirinya ne Kitayimbwa mu mmotoka kubassa mu ndala, kubanga kamera zazzeemu okubakwata nga mu mmotoka ya Nagirinya mulimu omuntu omu eyagivuze n'agireka e Nateete mu Kitooro.

Nagirinya yazaalibwa February 28, 1990. Nnyina Allen Lunkuse yafa wa myaka ena.

Mu 2017, yayanjula bba Edagr Gateni, mu maka ga bakadde be Antony Francis Lubowa e Kibuye, oluvannyuma ne bakola embaga mu October, 2018.

Kamisona wa poliisi avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango gy'ettemu, Monday Johnson Agaba yagambye nti baakakwata abantu bataano.

Ebyazuuliddwa biraga nti Nagirinya bwe yasimbula ku mulimu ku Community Integrated Development Initiative (CIDI) yatuukako ewa mukwano gwe e Nalumunye mu Jomayi.

E Nalumunye, eyo Kitayimbwa gye yamusanga amuvuge okumuzza awaka mu mmotoka Toyota Spacio UBA 570V.

AKULLO ALONDODDE ENGERI GYE BAAWAMBA NAGIRINYA

Eggulo, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu poliisi, Grace Akullo, yagenze mu bifo ebisatu we baawambira Nagirinya ne Kitayimbwa, we baasuula mmotoka e Nateete mu Kitooro ne we baasudde emirambo e Mukono.

Yabadde e dayirekita wa poliisi avunaanyizibwa ku kitongole ekikung'aanya n'okwekenneenya ebizibiti awaba wazziddwa omusango ekya Forensics, Andrew Mubiru.

Yeegattibwako akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Kampala South, Vincent Okurut, Kamisona wa poliisi avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku ttemu, Monday Johnson Agaba, Mark Odongo n'abalala.

Baatandikidde mu Nabisasiro zooni e Lungujja mu Lubaga, Nagirinya gye yali apangisa.

Wano baabannyonnyodde ebyaliwo ku Lwokusatu ekiro, Nagirinya lwe yawambibwa n'engeri gye baagezaako okudduka bamutaase emmotoka n'ebalema okuyimiriza.

Akullo yavudde mu mbeera n'atabukira ssentebe wa LC1, Paasita John Kizza n'amunenya okukulembera ekitundu ekijjudde enzikiza n'atafaayo kugamba ku batuuze kuteekawo mataala.

Bwavudde we baawambira Nagirinya, agenze ku kifo kya Green Apple Fast Foods awali kkamera ezaakutte abatemu nga bali ku bodaboda oluvannyuma lw'okuyimirirawo akaseera akawera nga baliimisa Nagirinya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...

Nnamwandu Sharifa Nampijja ne bamulekwa.

Ani yasse mu bukambwe owa N...

OMULAALO eyabadde anoonya ente ezaabadde zimubuzeeko ye yagudde ku mulambo gwa Rogers Ssemakula mu kibira eyabula...