TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

Added 2nd September 2019

Rema yalonze olukiiko olutegeka okwanjula okulibeera e Nabbingo ku lw’e Masaka nga November 14.

Olukiiko lukulirwa Hajji Issa Musoke. Rema amaze ekiseera ng'alina obutakkaanya ne Kenzo kyokka ng'emirundi mingi babussa ku bbali ne bakola bombi ebivvulu.

Issa Musoke yategeezezza Bukedde nti Obusiraamu bulagira abafumbo bwe baawukana omukazi amale emyezi ena alyoke afune omusajja omulala kyokka ye Rema amaze emyaka ebiri.

Kigambibwa nti Kenzo ‘yanoba' awaka e Seguku ku lw'e Ntebe, emyaka ebiri egiyise n'adda ku lw'e Salaama ng'asula mu sityudiyo ye eya Big Talent.

Rema yakola ekisoboka okuddihhana n'ayiiya ennyimba okuli ‘Siri muyembe', ‘Linda', ‘Touch my body' n'endala kyokka Kenzo yalinga addayo eka ate ne yeeyongererayo ddala e Buziga gy'asula kati.

Olwo Rema naye kwe kwefunira omusajja omulala. Issa Musoka yagambye: Njagala okwebaza Kenzo ne Rema nti mu byonna bye bayiseemu basobodde okukwata ensonga zaabwe mu mbeera eya kisajja kikulu okutuusa lwe bakkiriziganyizza baawukane mu mirembe.

Mu luyimba lwa ‘siri muyembe' Rema agamba "siri muyembe nti onninda kwengera oba paapaali nti owanula lyengedde." Kuno agattako nti "nkulinze".

Engeri Hamzah gye yakwaanamu Rema Bano bamaze emyezi egisoba mu musanvu nga baagalana era Hamzah okukwana Rema baasisinkana Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero (UMA) Rema gye yali agenze okuyimba ku mukolo ogumu.

Hamzah yasooka kutegeeza Rema nga bw'ali omuwagizi we n'amusaba amubuuzeeko n'okwekubya naye ekifaananyi oluvannyuma n'amusaba amuwe ku nnamba ye ey'essimu.

Wano Hamzah we yatandikira okumutokota.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...