TOP

Rema kati asula wa Hamzah

Added 2nd September 2019

Rema azimba enju e Kyaliwajjala. Bangi babadde balowooza nti gye yasengukira.

Kyokka ensonda zaagambye nti abeera wa Hamzah era enju ye (Rema) tennaggwa.

Okuva e Seguku, Rema yamaze kuddiza Kenzo mahare ssente ze yamuwa ng'amuwasa). Issa Musoke yategeezezza nti ennyumba y'e Seguku kati Rema ke yavuddeyo yagirekedde Kenzo.

Muwala waabwe Amaal yagenze ne Rema kyokka Kenzo akkirizibwa okumulaba w'amwagalira.

Rema era abadde abeera ne muwala wa Kenzo omukulu Maya (Kenzo yamuzaala mu mukyala mulala). Bino we bibeereddewo ng'omwana yagenda kuwummula ewa nnyina.

Abantu abenjawuulo baludde nga babuulirira Kenzo awase Rema kyokka n'alema nti tewali agenda kumukaka kuwasa mukazi.

"Okuwasa omukazi kiva mu kusiima nkolagana gy'olina ne munno. Okuwasa tekuba kwa mpaka era ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse nga nsazeewo nja kubabuulira. Kati mumbuuze ebirala ebizimba eggwanga." Kenzo bwe yagamba gye buvuddeko.

ENTEEKATEEKA Z'OKWANJULA ZIRI MU GGIYA

Ku Lwokutaano akawungeezi, Rema yafulumizza kaadi z'okwanjula. Kujja kubeera mu maka ga Yusufu Sserunjogi (taata wa Rema omuto) e Nabbingo mu Bataka.

Issa Musoke yategeezezza nti kumpi buli kimu kiwedde era kati balindiridde lunaku lwa mukolo. Emitendera gyonna Rema ne Hamzah bagiyiseemu.

Tebajja kukuba nkiiko za kusonda ssente.

REMA YASIIBUDDE KENZO MU BUTONGOLE

Nga tannaba kufulumya kaadi za kwanjula, Rema yakubidde Kenzo essimu n'amutegeeza enteekateeka n'okumusiibula. Kyokka bino we bijjidde nga waliwo obubonero obulaga nga Kenzo ayagala baddiηηane ne Rema.

Gye buvuddeko Kenzo yategekedde Rema akabaga k'amazaalibwa (Surprise party).

Rema yagaanyi okwogera ku by'okwanjula nti ensonga za ssenga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...