TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wadde abatanjagaliza balaga nti nze muzibu okusuulawo Rema ne mmuleka mu maka gaffe e Sseguku, naye ne Rema mukazi muzibu - Eddy Kenzo

Wadde abatanjagaliza balaga nti nze muzibu okusuulawo Rema ne mmuleka mu maka gaffe e Sseguku, naye ne Rema mukazi muzibu - Eddy Kenzo

Added 3rd September 2019

Mpise mu bintu bingi ne Rema. Wadde abatanjagaliza balaga nti nze muzibu okusuulawo Rema ne mmuleka mu maka gaffe e Sseguku, naye ne Rema mukazi muzibu. Rema muzibu nnyo. Kyokka era alina ebirungi bye. Muwala mulungi. Aweesa ekitiibwa. Bw’abeera mu muudu tolowozaayo mukazi mulala amusinga bisaanyizo. Kiki ekyakuddusa awaka?

 Kenzo ne Rema nga gukyabasaza mu kabu

Kenzo ne Rema nga gukyabasaza mu kabu

Ogamba otya nti by'oyogedde ku facebook bimala?

New York-Amerika
EDDY KENZO nnamusanze wano
mu New York, Bukedde gye
yansindise ku mirimu emitongole.
Musanze awatuukirwa ku wooteeri
ggaggadde eya Grand Hyatt
era asoose kuneekanga.
Kenzo: Owange Sseguya
onoonya ki wano?
Seguya: Njagala ggwe oyogere
ku bya Rema okufuna omusajja
omulala Dr. Hamzah Ssebunya.
Kenzo: Saagala kwogera ku bya
Rema. Nnaweerezza ekiwandiiko
ekyatuuse edda e Kampala.
Ebirimu bimala.
Seguya: Nedda tebimala. Mumaze
ne Rema emyaka mingi. Ogamba
otya nti by'oyogedde ku facebook
bimala?
Kenzo yasoose kulaga bw'atalina
buzibu bwonna ne Rema kufuna
musajja mulala "kubanga tumaze
emyaka ebiri nga tetubeera
ffembi". Kyokka bwe twalinnye
lifuti okutuuka ku mwaliiro gwa
23 kw'asula ak'obuntu ne kajja
n'atulika n'akaaba.
Kenzo: Mpise mu bintu bingi
ne Rema. Wadde abatanjagaliza
balaga nti nze muzibu okusuulawo
Rema ne mmuleka mu maka
gaffe e Sseguku, naye ne Rema
mukazi muzibu. Rema muzibu
nnyo. Kyokka era alina ebirungi
bye. Muwala mulungi. Aweesa
ekitiibwa. Bw'abeera mu muudu
tolowozaayo mukazi mulala
amusinga bisaanyizo.
Kiki ekyakuddusa awaka?
Kenzo: Ekisinga okunnuma ku
Rema, ebintu bye abikola kimbejja.
Osobola n'okumukubira essimu
emirundi egisukka ku etaano
era essimu n'agiraba ng'evuga.
N'asoma n'erinnya nga lya Kenzo,
kyokka n'atagikwatako.
Bwe wayitawo ekiseera, oluusi
kumpi ng'obudde buzibye
olwo n'akukubira.
Eyiye olina okugikwatirawo.
Bw'olwawo
olwo n'anyiiga nnyo.
Olugikwata ne yeetonda
mu ddoboozi
ly'Ekimbejja eriggyayo
"omukwano
omujjuvu".
Ekyewuunyisa
bw'omukubira essimu
enkeera era
addamu obutagikwata.
Oluvannyuma
ye n'akukubira
ne yeetonda. Kino
ne kindaga nti obutakwata
ssimu yange
akikola butereevu.
Sseguya naawe oli musajja.
Wandiwulidde otya nga mukazi
wo gw'osula naye, maama
w'omwana wo akuyisa bwatyo? Si
mulundi gumu, si ebiri?
Ebyo bibaawo mu bufumbo
Bibaawo era saagala kussa mu
lujjudde nsonga zange ne Rema.
Kubanga ebyange ne Rema
tebikoma awo. Mumanyi bwe
tulina omwana omuto. Ekirala
kumpi ennyimba za Rema zonna
nzirinamu omukono ate nga
nnyimba nnungi ezijja okuyimbibwa
ne bw'aliba alekedde awo
okuyimba. Twayawukanye naye
Rema mwagala. Waakiri emyaka
gye tumaze gimala obutamala
gasangula ku mutima gwange
kiseera ekyo.
Abafumbo bulijjo basowagana.
Kiki ddala ekibatabudde?
Kenzo: Rema yasuula obwesigwa.
Yazimba ennyumba eteri emu,
ezitali bbiri. Emu ku nnyumba
ze yazimba ya kalina. Kyokka
yazizimba n'azimala nga tambuulidde.
Nnabiwulira mu lugambo
oluvannyuma ne mbikakasa nga
bituufu.
Ekyo kyannuma
ne ntandika
okwekengera
Rema. Kubanga
nze ebyapa
by'ettaka,
ebiwandiiko
byonna ku
nnyumba, kaadi
z'emmotoka
n'ebiwandiiko
by'omugaso
byonna
mbiwa Rema
n'abitereka. Ne
bwe yafunye
omusajja omulala
ebintu ebyo
tannabimpa.
Ddala nga lwaki
ankweka ennyumba
z'azimba?
Ekyo kiraga
butanneesiga.
Ebyapa kuliko
eky'ettaka
e Masaka,
Rema kwe
yassa pulojekiti
y'obutunda.
Rema omuyita
mulalu okulekawo
Kenzo
amwagala
atyo agende ne Dr.
Ssebunya?
Kenzo: Ng'abantu tulina
ebintu ebimu kwe twawukanya
ebirowoozo. Ekitabula
Rema kwagala kumwanjula
tukole n'embaga. Kino
Rema akiruddeko era mpulira
bangi abakidding'ana.
Nze ndowooza nti ekitiibwa
ky'omusajja kiri mu
kubeera n'enju eyiye. Rema
ndudde nga nkimugamba
nti okwanjula n'embaga
birijja nga tumaze okuzimba
enju. Ekirala tewali
kitupapya kubanga tubeera
ffembi. Nnayagala tuzimbe
ennyumba mu kyalo e
Masaka tukoleyo n'ekiggya
kubanga taata wange ne
maama baafa.
Nkiraba nga kiswaza nze ne
Rema ffembi tuli Bassereebu
mu Kampala. Bwe
tulifuna ekizibu, mikwano
gyaffe bajje mu kyalo e Masaka
nga tetulinaayo wadde
akayumba?
Nze kwe kusalawo
ng'omusajja okusooka
eby'okuzimba, tuddeko
eby'okwanjula n'embaga.
Ekyo kyokka ne kibatabula?
Kenzo: Tetwanditabuse. Naye
Rema alina emikwano gy'abuulira
buli kizibu ky'asanga mu maka
ge. Emikwano gitera okumuwa
amagezi amabi. Ekibi ate naye
Rema amagezi ago kwakolera.
Ky'ogamba nti Rema mukyamu.
Kenzo ye mutuufu?
Kenzo: Nange nnina obukyamu
obwange. Njagala okwetondera
Rema. Aludde ng'ansaba mmuwe
obudde kyokka nga sibumuwa.
Mmala ebiseera bingi ebweru
w'eggwanga. Nkozesa obudde
bungi mu bidongo nga ndi mu
situdiyo. Ekibi eby'okwetonda
n'okukyusaamu byonna tebikyayamba
kubanga Rema bamututte.
Mbaagaliza obufumbo obulungi
ne Dr. Ssebunya. Nkuutira Rema
okulabirira omwana waffe. Rema
yampisizza mu kaseera akazibu
okumbuulira ku ssimu nti twawukanye.
Yampadde essimu ne
njogera ne muwala waffe Armal.
Bwe yavudde ku ssimu ne ntulika ne
nkaaba. Kubanga nnajjukidde ebintu
bingi. Kiruma okulaba ng'omwana
wo avudde mu kasolya ko agenda
kukulira mu maka malala ate nga
naawe okyali mulamu.
Kiki ekikunyiiza ku Rema?
Kenzo: Ekisooka twawukanye nkyamwagala.
Ekirala Ssebunya nsaba
bayise bulungi omwana wange. Ekinnuma
lwaki Rema mbadde mukubira
essimu nga tazikwata? Ebiseera
ebisembyeyo nga takyanneetaaga
wadde okukwatira ddala oba Rema
okunkubira.
Ennaku nnya eziyise yampeerezza
obubaka ku ssimu ng'ansiibula nti
"Kenzo nze kati ng'enze mu bufumbo
obuli siriyaasi".
Wamuzzeemu otya?
Kenzo: Nnasomye obubaka buno
ne nkaaba kubanga Rema mbadde
mwagala. Nnamugambye: Rema
mukazi wange okimanyi nkwagala
nnyo bulijjo era mbadde nkikugamba
naye lwaki ompisizza bwoti?
Omuntu gw'oyagala lwaki
wamuleka mu nju?
Kenzo: Okuva e Sseguku, ebizibu
byali binsusseeko. Kwe kugenda
okwewogomako e Buziga. Ensi eno!
Nneesanga ntandise kusula mu
bbaala wadde nga sinywa mwenge.
Byoyogedde sirabawo kyawukanya
bafumbo
Kenzo: Rema abadde takyaneesiga.
Yafuna omuze okukebera essimu
yange n'asoma mesegi ezibeerako.
Olumu yasangamu mesegi eyatutabula.
Twabituulamu nga buli omu
alemeddwa okutegeera munne.
Rema yasazeewo bubi kubanga
abafumbo babaako ne bye bagumira
kubanga nange nnina bingi bye
ngumidde ku Rema.
Abafumbo bagumira bingi. Ebyo
wandibigumidde
Kenzo: Sijja kwogera bisingawo
awo. Eriyo bye nnina okwesigaliza
kubanga Rema maama wa mwana
wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...