TOP

Ssemaka eyabula e Kajjansi bazudde mulambo

Added 3rd September 2019

SSEMAKA gwe baawamba ne bazuula omulambo mu mugga e Kajjansi abooluganda babiyingizizzaamu enkaayana z’ettaka ate beyali akola nabo bagamba nti bandiba nga baamutidde ssente z’akasiimo zaabadde yaakafuna.

 Abooluganda lwa Kalumba eyattibwa nga baggya omulambo ku ggwanika e Mulago. Kalumba eyattiddwa.

Abooluganda lwa Kalumba eyattibwa nga baggya omulambo ku ggwanika e Mulago. Kalumba eyattiddwa.

James Kalumba yabadde mu makaage e Bweya Bulunde mu Kajjansi Town Council ku ntandikwa y'omwezi oguwedde n'afuna essimu bwe yafulumye ennyumba ng'alinga alina gw'agenda okusisinkana tebazzeemu kumulaba wabula abaabadde bagogola akagga be baagudde ku mulambo gwe.

Ttulakita gye baabadde bakozesa okugogola omugga olwasimbye ekikumbi wansi okusikayo ekiddo yayerudde mulambo!

Eyabadde akivuga yeekanze ng'alaba ng'ekikumbi ekiyodde omuntu n'asooka asiriikiriza okusikayo ebintu nga bw'ayita abaabadde okumpi beetegereze ky'alabye.

Abantu olwasembedde okwetegereza nga balaba ebigere by'omuntu omutwe guli wansi mu mazzi.

Baayise poliisi n'ennyulula omulambo mu mazzi era mu kiseera ekyo waliwo eyabadde ategeezezza famire ya Kalumba abalunde nga bamunoonya bajje balabe nti guyinza okubeera omulambo gw'omuntu waabwe.

Baagenze okutaganjula omulambo ng'abaamutta baamulekera byonna ebimwogerako, densite y'eggwanga yabaddemu mu nsawo z'empale, ssente enkalu n'essimu ey'omu ngalo baagimulekera.

Baatandikiddewo okukaaba nga bwe balumiriza abamu ku booluganda okubeera mu kkobaane ly'okutta Kalumba.

ENSIBUKO Y'OKUTTIBWA KWA KALUMBA

Aba famire bagamba nti waliwo ow'oluganda lw'omugenzi gw'aludde ng'attunka naye ku ttaka lye yasikira eriweza yiika 26 nga lisangibwa Buwambo Lugo mu Wakiso.

Obuzibu we bwava nti ettaka lino lya famire, baasalawo okulonda abantu be bakwasa obuyinza okuliddukanya kyokka Kalumba n'asimbira omu ku bo ekkuuli.

Okuva olwo wabaddewo okusika omuguwa okwamaanyi nga n'olumu yawera nti ajja kumukola ekintu.

Omuntu y'omu gwe baali baagala okuteeka ku baweebwa obuyinza ku ttaka lino bagamba nti yeeyita mukozi wa State house era akyusakyusa amannya.

MUKYALA WE ANNYONNYOLA

"Nga August 8, 2019 Kalumba yabadde mu nnyumba ku ssaawa 3:30 ekiro ne wabeerawo amukubira essimu. Yabaddewo ne mukyalawe Jane Kizza Kalumba wabula teyawulira bulungi ani gwe yali ayogera naye era n'atabissaako nnyo mwoyo.

Anyumya nti bwe yalabye bba ng'asituka n'alowooza nti osanga agenze ku dduuka okubeerako ky'agula.

Yakanya kulinda nga talabikako omutima ne gutandika okumukuba kubanga abadde tatera kutambula kiro ate nga ne bw'abeera anaatambula tagenda nga tayogedde gy'alaga.

Nalaba wayiseewo eddakiika nga 20 ne nkuba ku ssimu ye ne nzigyako nga nkimanyi nti ajja kuddamu ankubire kyokka teyakuba era nagenze okuddamu okugikubako ng'essimu teriiko ne kimanya nti obudde buddugadde".

Abamu ku bakozi mu kitongole kya Motocare omugenzi gye yali akolera baategeezezza Bukedde nti obuzibu buyinza okubeera nga bwavudde ku ssente.

John Emoroit aludde ng'akola ne Kalumba yagambye nti wabadde waakayitawo ekiseera kitono nga Kalumba afunye akasiimo ke kubanga yawummula emirimu.

Wabula Christine Nannyonjo muwala w'omugenzi yatangaazizza nti baagenda mu bbanka ne bakebera nga tewali ssente ze baggyayo kubanga ne kaadi ya bbanka yali agirese waka.

BATANDIKA OMUYIGGO

Aba famire nga bakulemberwa mutabani w'omugenzi Herbert Ssenfuka Kalumba ekiro ku ssaawa nga 6:00 baasituka okutwala ensonga ku poliisi e Kajjansi kyokka bagamba nti abaserika abaaliwo baabasaba bagumiikirize obudde bukye kubanga bayinza okuyingiza omusango mu kitabo ate n'alabika.

Obudde olwakya nga talabika kwe kuddayo ku poliisi ne baggulawo omusango ku fayiro SD: 21/09/08/2019.

Banoonyezza buli we babadde bamusuubira nga talabikako era Senfuka yalaba obugumiikiriza bugenda bukendeera kwe kussa akazito ku poliisi waakiri ekwate abantu be bateebereza okubeera mu kkobaane ly'okutta kitaabwe.

Senfuka agamba nti bwe yewuubye ennyo ku poliisi e Katwe abamu ku baserikale aba Flying Squad ne bamutabukira nti abaleke bakole emirimu gyabwe bwe kimulema baali baakukwata ye gwe babeera baggalira.

Bw'atyo ensonga n'asalawo okuzeesonyiwamu kko ne basigala kuwuliriza oba waliwo omuntu yenna ayinza okubaleetera amawulire agakwata ku kitaabwe.

Ku Ssande olw'eggulo we baafunidde obubaka nga babayita okulaba omulambo gwa kitaabwe.

Hassan Majaluwo ow'ebyokwerinda mu K.K.B cell Kajjansi town council omulambo we gwazuuliddwa, yategeezezza nti abatuuze baali beekolamu omulimu okugogola omugga gw'e Kajjansi ne bakolagana ne nannyini kakolero ak'ebyebbumba eyategeerekeseeko erya John n'abawa ka tulakita weetiiye ne batandika okugogola omwala.

Kyokka babadde baakagogolako ekitundu kitono ne balaba omulambo gw'omuntu eyabadde ali wansi w'ekiddo mu mabbali g'omugga ne bayita aba LC abaayise poliisi n'abafamire ya Kalumba abazze ne bakakasa nti ye muntu waabwe eyali yabula.

Patrick Wasswa eyabaddewo ng'omulambo gwa Kalumba gunnyululwa, agambye nti omulambo gwabadde guzimbye nnyo era gwasangiddwa gutandise okuvunda nga okugussaayo baasulika musulike.

Ayongeddeko nti omulambo gubadde gwakubwa nnyo mu maaso ekiteeberezebwa nti osanga basooka kumutulugunya nga tebanamutta.

Omulambo gwa Kalumba gwasangiddwamu essimu ye ey'omungalo ng'eri mu nsawo y'empale saako ne ‘waleti' ng'erimu ebimwogerako okwabadde endangamuntu n'ebirala. Mwabaddemu n'essente 20,000.

EMBEERA KU GGWANIKA E MULAGO

Eggulo baakedde ku ggwanika e Mulago okuggyayo omulambo ne babalagira okugumiikiriza kubanga ebbanga ly'amaze nga bamunnyise mu mazzi gwabadde mu mbeera mbi.

Era baalinze okutuusa olweggulo we baagubawe-eredde. Lipooti y'omusawo yategeezezza nti embeera omulambo gye gwabaddemu nga tebayinza kuzuula mu bwangu ekyatta Kalumba, omulambo gwabadde guvunze.

ABAMU KU BANTU BE BAZZE BAWAMBA NE BABATTA

Maria Naggiriinya ne ddereeva we Ssalongo Ronald Kitayimbwa baabawambidde e Lungujja ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Emirambo gyabwe baagizudde ku Lwokutaano e Takajjunge Mukono.

Ku ntanditwa ya August 2019, omuyimbi Ziggy Wine yabula ne bamuzuula mu ddwaaliro e Mulago, kyokka poliisi yategeeza nti yafuna kabenje ka pikipiki ke kaamutuusaako ebisago ebyamuviiriddeko okufa.

Isaac Makubuya; makanika wa kompyuta, yabula nga February 13, 2018 oluvannyuma lw'okumukubira essimu nga bamuyita okubaako kompyuta z'akanika ku Kampala Road. Okuva lwe yagenda okukanika kompyuta, taddangamu kulabika.

February 2018, Susana Magara muwala wa John Magara baamuwamba ne bamubuzaawo.

Abaamuwamba baasaba ssente era baabawaako ekitundu, baamutulugunya ne bamutemako engalo ne baziweereza bazadde be n'okubaweereza obutambi bw'amaloboozi nga bamutulugunya.

Oluvannyuma baamutta omulambo ne bagusuula e Kitiko Mutungo ku luguudo lw'e Ntebe.

April 25, 2018 baazudde omulambo gw'omuwala ku lusozi e Namasuba mu kifo kyennyini we baasuula omulambo gw'omuwala Joan Namazzi eyali asoma ku St. Marks College e Namagoma gwe bawamba mu March 2014

July 2015, Desire Mirembe omuyizi e Makerere yawambiddwa ne bamutta omulambo ne bagusuula mu bikajjo e Lugazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...