TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bryan White bamuwadde ennaku 14 okwewozaako ku musango gw'obukadde 135 ezimubanjibwa

Bryan White bamuwadde ennaku 14 okwewozaako ku musango gw'obukadde 135 ezimubanjibwa

Added 3rd September 2019

OMUGAGGA Bryan White (Brian Kirumira) ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation, kkooti ebawadde ennaku 14 zokka okuwaayo okwewozaako kwabwe mu musango gw'ebbanja gwa bukadde 135 ezaasigalayo bwe baamuguza weema.

Omulamuzi Anna Mugenyi owa kkooti enkulu etawulula enkayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala yawadde ekiragiro kya Brian White ne kkampuni ye okuteekayo okwewozaako kwabwe mu nnaku 14 zokka oluvannyuma kkooti etandiike okubatabaganya.

Endooliito zino zatandika gye buvuddeko, Ephraim Kirumira Majjanja nnannyini kkampuni ekola weema eya Majjanja & Sons e Kireka era nga mutuuze mu kifo kino okulumiriza Bryan White okugaana okumusasula obukadde 135 era yali tannamuwa tenti namutiisatiisa okumukuba amasasi.

Majjanja yalaba embeera egaanyi ekiwejjowejjo ng'ali mu kkooti ng'ayita mu kkampuni ye eya Majjanja & sons company Ltd ng'omusango guli ku fayiro nnamba CS 137/19.

Nawawaabira Bryan Kirumira amanyiddwa nga Bryan White, dayirekita mu kkampuni ye eya Bryan White Foundation ne Nicholas Muwanguzi owa Wald electronicis.

Ebiwandiiko bya kkooti byalaze nti mu October wa 2018, Muwanguzi yatuukirira Majjanja ku lwa Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation namusomera ddiru nti abakolere weema eziwera ku 270,000,000 Majjanja n'abuguma.

Nga October 13 2018 Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation ng'abayita mu agenti waabwe Muwanguzi basasula obukadde 135 era ne basuubiza okusasula ezaasigalayo obukadde 135 ne batandika okukola era mu nnaku ntono baali bamaze.

Nga October 24 2018 Majjanja yabawa weema zino era nga Muwanguzi ye yazinona nga tebannassa mukono ku kiwandiiko ekiraga nti bazifunye Bryan White ne Muwanguzi bazirambula ne bazekkennenya.

Era bwe bamala okuzirambula Bryan White ne Muwanguzi baategezza Majjanja nti ssente ezaasigalayo baakuzisasula mu wiiki emu yokka kyokka nakati bakyagaanyi okusasula ssente zino newakubadde babanjiza obwoya ne bubula okubaggwa ku ntumbwe.

Akikkaatiriza nti nga February 5 2019 Majjanja ng'ali ne banne bagenda mu kyalo e Busunju Kikandwa Mityana nga bagenze kubanja ssente kyokka babasiba busibi ku poliisi y'e Busunju oluvannyuma ne batwalibwa ku poliisi e Mityana gye babaggulirako omusango gw'okukozesa olukujjukujju ne bamuggyako ssente oluvannyuma gye babateera ku kakalu ka poliisi.

Nga Bryan White yekwasa nti omutindo gwa weema gwali mubi nnyo nti yaziteeka mu musana ennaku bbiri ne zitandika okuggyamu ebituli wabula fayiro bwe yatwalibwa ew'omuwaabi wa gavumenti okubawabula wabula nalagira bagiggale kuba omusango guggwa mu nsonga za ngassi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...