TOP

Fr. Kiibi atwaliddwa mu kigo ky'e Mitala Maria

Added 3rd September 2019

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Basaseredooti mu ssaza lino ery’e Kampala.

Bya LAWRENCE KIZITO ne PONSIANO NSIMBI
 
SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu ery'e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Basaseredooti mu ssaza lino ery'e Kampala. 
 
Mu nkyukakyuka zino abadde omumyuka wa bwanamukulu e Lubaga, Fr. Deogratious Kiibi Kateregga akyusiddwa n'atwalibwa mu kigo kya St. Bruno e Mpigi nga Bwanamukulu. 
 
Mu Missa eyookusatu Kiibi gye yakulembeddemu ku Ssande nga yabatirizzaamu n'abaana abasoba mu kkumi, yalangiridde nti yakyusiddwa n'atwalibwa e Mpigi era n'ategeeza nti bbo balinga baserikale nga bwe bakukyusa tobuuza kigambo kyonna kuba obeera walayira okuwulira Omusumba n'abalimuddirira. 
 
Yasabye abantu bonna abaatwala ebbaasa z'okudduukirira omulimu gw'okugula emizindaalo mu Klezia, okuzikomyawo mu bwangu asobole okukola embalirira nga tannaba kugenda. 
 
Akulira eby'amawulire mu ssaza Ekkulu ery'e Kampala yategeezezza nti buli mwaka enkyukakyuka zino zikolebwa mu Eklezia okusobozesa Abasaseredooti abaakafuluma okufuna ebifo. 
 
Yayongeddeko nti enkyukakyuka zino, zikyagenda mu maaso ng'olukalala olwenkomeredde terunnaba kufuluma.
 
Abasaseredooti abamu bagenda ku misomo abalala bagenda mu kuwummulamu era n'agamba nti enkyukakyuka zino zaakutandika okukola nga September 27, 2019.
 
ABAAWEEREDDWA EBIFO
Abaabadde baakafuna Obusaseredooti baasindikiddwa mu bifo eby'enjawulo; 
Fr. William Rafael Gayi ne Fr. Henry Mubiru -Seminariyo e Kisubi, Fr. Ronald Kazibwe -Mitala Maria, Fr. John Muyanja - Kampalamukadde, Fr. Nicholas Mulumba - Bulo, Fr. Victor Mubiru - Nsambya, Fr. Ronald Kyambadde -Seminariyo e Nyenga, Fr. Mathias Nteza - Yezu Kabaka, Fr. Timothy Lukanaso - Lubaga (Ye yazze mukya Fr. Kiibi), Fr.  Julius Kanyike - Kiwatule, Fr. Raymond. M Ssebina - Ggaba, Fr. John Mary Walugembe - Kibuye - Makindye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...