TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Atunze ekibanja aba Buganda Land Board ne bamuwawaabira

Atunze ekibanja aba Buganda Land Board ne bamuwawaabira

Added 3rd September 2019

EKITONGOLE kya Buganda Land Board (BLB) kiwawaabidde Katikkiro wa Namasole ku poliisi lwa kutunda kibanja ku ttaka lya Kabaka.

Bya Musasi waffe
   
EKITONGOLE kya Buganda Land Board (BLB) kiwawaabidde Katikkiro wa Namasole ku poliisi lwa kutunda kibanja ku ttaka lya Kabaka.
 
 Akulira BLB, Kiwalabye Male ensonga yazitutte eri ku poliisi ekola  ku nsonga z'ettaka kye yasabye kinoonyereze ku kibanja ky'e Mawanga ku ttaka ly'e Munyonyo ekyatundwa Abraham Luzzi. 
 
Kiwalabye yalumirizza Luzzi nti ekibanja yakiguzizza kkampuni ya Ntami Investments Limited nga tatuukiridde kitongole kya Buganda Land Board abatongole mu kulabirira ettaka lya Kabaka.
 
 Ebbaluwa etegeeza nti Luzzi kye yakola kimenya mateeka.
 
Ekibanja Luzzi kye yatunda kiri ku poloti 3 Block 256 e Mawanga Munyonyo mu Wakiso.
Omwogezi wa BLB, Dennis Mugoya yakakasizza nga Luzzi bwe yawawaabiddwa n'agamba nti ku ndagaano kuliko omukono gwe. 
 
Yategeeza nti amalaalo agaaliko omulamuzi w'eddaala erisooka mu kkooti e Makindye Edith Mary Mbabazi mu December 13, 2018 yawa Henry Mukaabya olukusa agasimule.
"Ebiragiro bya kkooti bituukirizibwa mu ssaawa za kukola era bwe kyakolebwa nga kkooti bw'ekirambika. Yaweze nti Obwakabaka tebugenda kussa mukono okutuusa nga buzaawudde ekibanja kino okuva ku mufere Luzzi.
 
Yalaze ebbaluwa akulira Buganda Land Board Kiwalabye Male gye yawandiikira omuwandiisi wa Kabaka owekyama n'awaako Omulangira David Namugala Mawanda (agambibwa okuba nnyini kibanja Luzzi kye yatunze). Akulira Poliisi y'e Kabalagala, Abraham Luzzi (eyatunda) n'omuguzi ne Ntami Investments Limited (eyagula) erabula omuguzi nga bwe kimenya amateeka okugula ekibanja nga nnyini ttaka tategedde.
 
 Endagaano yabagibwa bannamateeka aba Nakafeero, Mawemuko  & co. Advocates nga May 11. Obuguzi bwali wakati wa Luzzi n'omuguzi Ntami Investiments Limited.
Ekibanja kiwerako obugazi bwa 0.2381 Hectares. Kyatundibwa 400,000,000= (obukadde bina). 
Endagaano eriko omukono gwa Luzzi eyatunda ku lwa Namasole ne Everine Ndibalekera. Namasole yajulira obuguzi ne densite ye neyokebwamu kkopi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...