TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino ebyasikirizza Rema okusuulawo Kenzo n'agenda ne dokita Hamza Ssebunya

Biibino ebyasikirizza Rema okusuulawo Kenzo n'agenda ne dokita Hamza Ssebunya

Added 4th September 2019

Rema okusalawo okugenda ne Dr. Hamzah Ssebunya yasoose kubuuliriza n’amulabamu omulamwa kubanga muyigirize, ava mu famire y’abategeevu, mugagga ate abeera n’abagagga b’alya nabo obulamu.

 Ssebunya ne Rema.

Ssebunya ne Rema.

Obwo bwe bulamu Rema bw'ayagala era aludde nga yeemulugunya nti ekirimulemya Eddie Kenzo tamuwa budde bumala kukola laavu, tebagendako awutu ate Kenzo eby'okwanjula Rema n'okumukuba embaga abadde alaga nga si by'aliko.

Ye Ssebunya bwe yamaze okusiimagana ne Rema yamukakasizza okumwanjula amukube n'embaga.

Rema ludde ng'akiddihhana nti bwe ziba ssente asobola okuzeekolera, bwe ziba ngoye asobola okuzeegulira, ennyumba nazo asobola okuzizimba.

Ky'ayagala ku musajja kumuwa mukwano omujjuvu, kumwanjula n'okumukuba embaga.

Ssentebe w'abagagga abeegattira mu kiibiina kya Kwagalana, Godfrey Kirumira atera okulabibwa ne Ssebunya. Era Kirumira yategeezezza Bukedde nti Ssebunya mutabani we ddala.

"Oyo mutabani wange Dokita w'e Mulago. Yakuguka mu byakujjanjaba bakyala. Kitaawe ye mugenzi Ahmed Kibirige eyali ssente w'abasuubuzi Bannayuganda e Dubai, kyokka yafa emyaka munaana egiyise," Kirumira bwe yayogedde ku Ssebunya.

N'agamba: Ssebunya tumwenyumiririzaamu kubanga Dokita.

Naye ate omusaayi gwaffe omusuubuzi nagwo gumulondodde.

Alina bizinensi ye mu Kampala- asuubula n'okutunda ebintu ebikozesebwa abasawo oba mu malwaliro. Bizinensi ya Ssebunya eri ku Johnson Street.

Waliwo ebifaananyi ebyaweerezeddwa Bukedde ebiraga Ssebunya ng'alya obulamu n'abagagga okuli Kirumira ne Hajji Hamis Kiggundu eyakazibwako Ham nga bali ku lyato.

Kirumira yategeezezza nti eryato kw'alabikira ne Ssebunya lyamutonerwa Ham ng'ekirabo era bonsatule ne baligenderako ku nnyanja.

Kirumira yagambye nti Ssebunya okuwasa Rema kimussa mu kattu kubanga Ssebunya mutabani we ddala.

Ate Kenzo naye amutwala nga mutabani we kubanga Kirumira abadde omu ku bamuleze ng'amussaamu ssente okutumbula ekitone kye eky'okuyimba.

Kyokka kyategeezeddwa nti Rema yasooka okusisinkana Ssebunya ku mukolo ogumu ogwali ku Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo. Eno Rema yali agenzeeyo kuyimba.

Ssebunya yasaba Rema okwekubya naye ebifaananyi ng'omuwagizi we. Bwe waayitawo akaseera, Ssebunya n'anoonya ennamba y'essimu ya Rema n'amuweereza ebifaananyi bye beekubya ku UMA.

Bwe yamala okuweereza ebifaananyi n'atandika okuweererezaako mesegi ku ssimu kyokka nga Rema tayanukula.

Rema mu kiseera kino yali mu bizibu ne bba Kenzo. Bwatyo n'atandika okunoonyereza ku Ssebunya.

Wano mikwano gya Rema kwe kumuwa amagezi anyweze Ssebunya kubanga ye musajja ow'ekirooto kye era Katonda yali yamumulaga dda kye yava ayimba oluyimba lwa "Dokita" mu 2014 wadde nga Rema yali tannamanya nti alifumbirwa Dokita.

Mu kiseera kino, Ssebunya we yafunira obuzibu ne mukazi we eyasooka Betty eyali omukozi we n'amusiramula era ne babawoowa mu April 2017.

Mikwano gya Betty bagamba nti Betty yakebera essimu ya bba n'asangako mesegi emptirivu bba ze yasindikiranga Rema.

Kyokka yasooka butabifaako kubanga ku ssimu tekwaliko mesegi za Rema ng'ayanukula.

Kigambibwa nti Rema bwe yakkiriza okusisinkana Ssebunya olwo Rema n'amuteerawo obukwakkulizo bw'aba nga ddala ayagala babeere bombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...