TOP

Obukwakkulizo Rema bwe yawa dokita Ssebunya

Added 4th September 2019

Mu bukwakkulizo kwaliko Ssebunya okukakasa Rema okumukuba embaga; wadde Ssebunya Musiraamu kyokka alina okuleka abakazi abalala abeere ne Rema yekka; okumufumbirwa ng’agenda mu ddya n’omwana we Amaal gwe yazaala mu Kenzo.

 Dr Ssebunya ne Rema

Dr Ssebunya ne Rema

Kigambibwa nti okutuukiriza obukwakkulizo, Ssebunya kye yava alekawo mukazi we Betty gwe yaleka mu nju gye baali bapangisa e Bukoto.

Ssebunya n'agenda mu nju gye yali yaakamaliriza e Namugongo.

Rema naye yava ewa Kenzo e Seguku n'atandika okubeera ne Ssebunya.

Famire ya Ssebunya erimu eddiini y'Obusiraamu. Ssebunya yawabulwa okutwala Rema mu bazadde be ng'ekisiibo(Ramadhan) tekinnatandika mu May 2019.

Bwe batyo baakola omukolo gwa "NIKA" ekitegeeza okuwoowa. Ssebunya yasitula Rema n'amutwala ewa nnyina e Kirinnya-Bweyogerere n'amwanjulira famire era Omuwalimu n'abawoowa okubakkiriza okubeera bombi mu ddiini.

Rema bwe yava ewa Kenzo okudda e Namugongo, Kenzo yasooka kuwubisibwa kubanga we yamanyira nti Rema aliko ennyumba gy'azimba e Janda-Namugongo.

Yasooka kulowooza nti gy'agenzeemu so nga yali agenze wa Ssebunya.

Ennyumba ya Rema ya kalina eriko enju ezenjawulo ez'abapangisa. Kyokka tennaggwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...