TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kyagulanyi akuutidde ab'e Hoima okukuuma emirembe

Kyagulanyi akuutidde ab'e Hoima okukuuma emirembe

Added 4th September 2019

AKULEMBERA ekisinde kya ‘People Power’, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) akuutidde ab’e Hoima okukuuma emirembe n’okugoberera amateeka nga banoonya akalulu mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Hoima.

 Zaake, (ku ddyo), Nyakato (eyeesimbyewo), Kyagulanyi ne Joel Senyonyi ku kisaawe e Booma mu Hoima.

Zaake, (ku ddyo), Nyakato (eyeesimbyewo), Kyagulanyi ne Joel Senyonyi ku kisaawe e Booma mu Hoima.

Yasinzidde ku Booma Grounds e Hoima ku Mmande ng'anoonyeza Asinansi Nyakato akalulu.

Nyakato yeesimbyewo ku tikiti ya FDC attunka n'abalala okuli owa NRM Harriet Businge Mugenyi.

Bobi Wine yategeezezza abali ku ludda oluvuganya bonna nti balina okubeera abagumiikiriza era bagoberere ebiragiro ebibaweebwa awo obuwanguzi bujja kubabeera mu ttaano.

Yasabye abalina obuyinza okukulembera abantu bonna mu bwenkanya era babeere beesimbu.

Yalabudde ab'e Hoima okulonda obulungi basobole okugobolola mu mafuta agali mu kitundu kyabwe.

Yabategeezezza nti yonna gye bazze bayita mu kalulu akookuddamu bazze bakakukumba n'awa ekyokulabirako nga bwe baakola e Bugiri, Rukungiri, Alur ne Jinja East.

Nyakato yategeezezza nti agenda okugonjoola ebibadde biruma ab'e Hoima ng'atuusa eddoboozi lyabwe mu palamenti.

We bwazibidde eggulo ng'omwogezi wa poliisi mu bitundu by'e Bunyoro, Julius Allan Hakiza ategeezezza nti baabadde bakutte Ssentebe wa Kasangati Town Council, Tonny Ssempeebwa Kiyimba bwe yabadde akozesa mmotoka ya gavumenti okunoonya akalulu.

Okukuba akalulu kwa September 6, 2019. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...