TOP

Gwe baayiiridde asidi afudde

Added 4th September 2019

OMUKAZI gwe baayiiridde asidi bwe yabadde agenze mu bbaala okwesanyusaamu afudde.

 Katikkiro Mayiga (ku kkono) eyabadde omugenyi omukulu

Katikkiro Mayiga (ku kkono) eyabadde omugenyi omukulu

Harriet Najjuma 40, abadde omutuuze mu Kiganda zooni mu muluka gwa Kawempe II.

Yafudde mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri. Najjuma okumuyiira asidi, baamusanze ku bbaala ya maama Cissy e Kawempe mu Kisowera zooni ku luguudo oludda e Ttula.

Enjega eno yabaddewo ku Ssande ku ssaawa 4:00 ez'ekiro ng'ekifo awaabadde obutemu buno kyesudde akabanga katono okuva awali kkamera za poliisi ku luguudo lwa Kawempe-Ttula.

Omugenzi Najjuma y'abadde n'ateeberezebwa okuba muganzi we omupya Simon Buweze omusuubuzi ku Mukwano Arcade mu Kampala. Buweze omutuuze w'e Kawempe Ttula naye yalumuziddwa ng'ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro e Kiruddu gy'ajjanjabirwa mu kiseera kino.

Najjuma abadde akola ne muganda we mu dduuka lya JOFLOV LTD eritunda ebizimbisibwa e Nakasero mu Kampala.

Abooluganda lw'omugenzi basabye gavumenti ne Polisi okusitukiramu okulaba nti bakwata eyasse omuntu waabwe kuba tebannategeera kyamussizza.

Abatuuze mu kitundu omugenzi gy'abadde abeera bali mu kiyongobero olw'obutemu obwatuusiddwa ku mutuuze munnaabwe.

Abatuuze basabye gavumenti okubongera obukuumi kubanga obumenyi bw'amateeka bususse mu kitundu kino.

Omugenzi alese abaana musanvu okuli: Waldah Namulinde 18, Habibah Namusoke 16, Irene Nalule 9, Hellen Nampewo 6, Harold Jjagwe 11, Haron Lwanga 13 ne Ronnie Mutebi.

Namulinde mulekwa omukulu, yalaajanidde polisii okunoonya abatemu abasse nnyaabwe basobole okufuna obwenkanya.

Omugenzi azaalibwa Sarah Zawedde n'omugenzi Paul Ssewava. Waakuziikibwa mu disituulikiti y'e Nakaseke olwaleero ku kyalo Munyolwe.

ABAASIMATTUSE BALOJJA

Christopher Kaboggoza (biker), omuvuzi wa pikipiki ennene nga mutuuze mu Kiganda zooni e Kawempe ng'ono naye yayiiriddwa asidi ne famire ye agamba nti yali ava Namboole ne batanani be okuli Rodhin Kivumbi 11 ne Raymond Lutaaya 11, Buweze mukwano gwe n'amuyita amuweemu amulage ne muganzi we omupya gw'abadde yaakafuna.

Yavuze butereevu n'agenda ku bbaala okusanga mukwano gwe eyamuyise. "Olw'okucamuka okungi, nakubidde mukyala wange okuva awaka naye n'ajja okutwegattako nga simanyi nti muyita mu kufa.

Wakati mu kulya n'okwemiisa enkonko n'emyenge bye twabadde tutumizza, twekanze ng'omutemu atutuuseeko ne bbaketi ya asidi.

Ku mmeeza twabaddeko abantu munaana wabula omutemu yapimye ku ludda mukwano gwange Buweze lwe yabaddeko ne muganzi we.

Ekiseera kyabadde kya bunkenke era twesansabaze buli omu n'abuna emiwabo.

Nze ne mukyala wange Gorret Nansamba, asidi yatwokezza nnyo amagulu kubanga twabadde ku mmeeza yeemu n'omugenzi.

Abaana bange amatondo ga asidi gaabookezza ebitundu by'omubiri ebitali bimu. Tulumizibwa nnyo era nsaba ebitongole byokwerinda bikole ekisoboka okulaba nti omutemu akwatibwa.

Buweze abadde mukwano gwange ebbanga ddene nga tukolagana naye mu bizinensi.

ABAANA ABAALABYE OMUTEMU BOOGEDDE

Abaana ba Kaboggoza bagambye nti baasoose kulaba omukazi ng'asibye akatambaala ku mutwe ng'akutte akaveera aka kiragala ne tulowooza nti aliko by'atunda.

Yamazeewo ebbanga, ffe oluvannyuma twamuggyeeko ebirowoozo ne tudda ku byokulya taata bye yabadde atugulidde.

Oluvannyuma lw'akaseera twawulidde ng'abantu ku mmeeza taata kwe yabadde bakuba enduulu kyokka ne tulaba ng'omukazi y'omu adduka okubuukira bodaboda eyabadde emulinze.

Mu kiseera kino, ebbaala awaabadde ettemu lino yaggaddwa. Najjuma ne Buweze babadde bayimbi mu Klezia ya Holly Family e Kawempe.

POLIISI KY'EGAMBA

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala, yategeezezza nti batandise okuyita abamu ku baalumiziddwa mu butemu buno okuggyibwako sitatimenti era bategeezeddwa nti omutemu yabadde mukazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....