TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro wa Namasole awanda muliro ku bya Mmengo okumuwawaabira

Katikkiro wa Namasole awanda muliro ku bya Mmengo okumuwawaabira

Added 5th September 2019

KATIKKIRO wa Namasole akaayidde aba Buganda Land Board (BLB) olw’okumutwala ku poliisi olw’ekibanja e Munyonyo kye yatunze.

Bya MUSASI WAFFE
 
KATIKKIRO  wa Namasole akaayidde aba Buganda Land Board (BLB) olw'okumutwala ku poliisi olw'ekibanja e Munyonyo kye  yatunze. 
 
Bwe yabadde ayogera ne Bukedde, Abraham  Luzzi yagambye nti ‘"Kiwalabye Male okuntwala ku poliisi aba yeerabidde nti mukopi nga nze nti era aba asusse ensalo y'okumanya w'akoma ku nsonga za Buganda."
 
 Namasole mu Buganda y'aba nnyina wa Kabaka, ono y'e Namasole owookuna  ku bazze basikira eyali azaala Ssekabaka Daudi Chwa. Yalonda nze nga Katikkiro we n'ampa n'ebiwandiiko ebinkakasa. Kiwalabye akimanye nti mu Buganda Namasole aba ne Katikkiro. Okumpaabira aba awaabidde Namasole jjajja wa Kabaka Mutebi eyannonda," Luzzi bwe yategeezezza.
 
Yayongedde okunnyonnyola nti, "Kiwalabye okuwaabira alinga atamanyi bukulu bwe mu Buganda. Ndibalekera ali mu luse lwa Namasole Tekera Najjemba eyazaala Ssekabaka Daudi Chwa ll. Ku kibanja amazeeko emyaka 100 n'omusobyo, kuliko n'ebiggya bya bajjajja ba Buganda era wano we waaziikibwa Lubuga wa Namasole wa Everine Kulabako azaalira ddala Ssekabaka Daudi Chwa," Luzzi bwe yagambye. 
 
BLB okujojomya abantu ku ttaka ensangi zino n'ezingiramu n'abakulu mu luse lwa Kabaka omuli Bannamasole, Bannaalinnya, Abalangira n'Abambejja kituuse okukyayisa Kabaka mu bantu be. Batadde olukomera ku Kabaka nga ne Namasole eyandimulabye okumunnyonnyola eby'enkizo bateekawo olukomera n'atamulaba. 
 
Bakira bw'ayogera ng'alaga empapula Namasole kw'azze asabira okusisinkana Kabaka n'alemesebwa.
 
Kabaka wa bantu nnyo okusinga abakulembeze abalala kyokka tewali kizibu kyenkana kumulaba so ng'abamu baba n'ensonga ez'essimba ze baba baagala okumutegeeza.
 Yayongeddeko nti ebintu bya Namasole bingi bitundiddwa omuli n'akatale k'e Makindye okumpi ne kkooti akamanyiddwa nga "Olusuku lwa Namasole.
 
Baamusuubiza okumuwaamu ensimbi kye bataakola.  Yanokoddeyo n'ettaka eddala lye yagambye nti liri mu mannya ga Everine Kulabako e Lukuli ku Block 253 plot 14, 45 ne 261.  
 
Nti nalyo lyolekedde okutundibwa aba Buganda Land Board nga tebatuukiridde Namasole. Luzzi bakira bino abyogera bw'alaga ekiwandiiko kye yasindika e Mmengo nga kisaba Namasole aweebwe omugabo ku lusuku lwe olwatundibwa aba Buganda Land Board.
 
Yagambye nti Namasole okutunda ekifo kino yamaze kukola buli kyetaagisa era eky'obuntubulamu eri omukuumi waakyo. Yagulidde Joseph Mukasa abadde akuuma ekifo kino okumala emyaka asatu mmotoka ekika kya ttipa empya n'amugulira n'ekifo ekirala aw'okubeera," Luzzi eyabadde tasalikako musale bwe yagambye wakati mu kwewuunya.
 
KIWALABYE MALE  Ky'agamba        
Bwe twatuukiridde Kiwalabye Male yagambye nti ‘‘Nze nkulira bukulizi kitongole kya Buganda Land Board era si kyange. Nnyinikyo ye Kabaka era ye nannyini ttaka eryo eryogerwako.'' 
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...