TOP

Olukwe lw'okutta Nagirinya lwalukiddwa ku kyalo

Added 6th September 2019

OMUSAJJA eyalabikidde mu katambi ku by’okuwamba n’okutta Nagirinya, kizuuse nga y’omu ku bakolera mu kabinja k’abatemu abapangisibwa okukola ‘misoni’ ez’omutawaana.

Omugenzi Maria Nagirinya

Omugenzi Maria Nagirinya

Bya BASASI BAFFE

OMUSAJJA eyalabikidde mu katambi ku by'okuwamba n'okutta Nagirinya, kizuuse nga y'omu ku bakolera mu kabinja k'abatemu abapangisibwa okukola ‘misoni' ez'omutawaana. 

Akabinja kano kakozesa buli kika kya kissi era kalina n'emmundu; nga we kyetaagisizza okukozesa amasasi, ze baggyayo ne lwogooma! 

Akabinja kano kalina emirandira mu bitundu ebyetoolodde Kampala era kigambibwa nti ekimu ku bitundu mwe balina amaanyi ye Lungujja gye baawambidde Maria

Nagirinya Gateni 28, ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa ne babatta oluvannyuma emirambo gyabwe ne bagisuula e Nakitutuli mu Mukono, abantu gye baagisanze ku

Lwokutaano lwa wiiki ewedde. 

Ekibinja ky'omusajja oyo eyalabikidde mu katambi ng'avuga emmotoka ya Nagirinya UBA 570V mu kiro mwe baamuwambira akolera mu kibinja ekinene ekiteeberezebwa okuba nga kyali kisimbye amakanda e Makindye mu Kampala naye nga mu kiseera

kino, we basinziira okutigomya abantu tewamanyiddwa bulungi.

 mugenzi itayimbwa Omugenzi Kitayimbwa

 Tebakola bokka wabula boogerwako nti balina emirandira mu bubuga bwa Kampala n'emiriraano era emirandira gy'ekibinja ky'abatemu bano mu kitundu ky'e Lungujja gya maanyi.

Kigambibwa nti e Lungujja, bakolera wamu n'akabondo k'abazigu akaakazibwako "Kolaasi" nga mulimu abatemu aboomutawaana, era emirundi mingi bakozesa mmundu.

 

Ekigendererwa ky'abatemu bano abasse Nagirinya ne Kitayimbwa tekinnamanyika, wabula bambega bye baakazuula biraga nti baapangisiddwa bupangisibwa. 

Kino kyongedde okuwaliriza bambega okussa amaanyi ku bantuabateeberezebwa nti babadde n'obutakkaanya ne Nagirinya oba famire ya kitaawe Francis Lubowa nga be bayinza okuba nga baapangisa akabinja k'abatemu bano. 

Omumyuka wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye yagambye nti ekifaananyi kkamera ze kyakutte mu kiro kya August 28, 2019 bakyesigamyeko nnyo mu kunoonyereza kwe baliko era n'asaba buli alina ky'amanyi ku musajja oyo ategeeze poliisi emuliraanye, mu ngeri ey'ekyama.

 Akatambi akaakwatiddwa e Kinnawattaka kalaga omutemu ono ng'ali ku sipiidi ey'amaanyi nga kigambibwa nti nakyo kyabadde kigenderere okugezaako okwebalama abeebyokwerinda.

 Essaati enjeru gy'alimu n'ekijaketi ekimyufu byonna bikwatagana bulungi n'eby'omujulizi omukulu Brenda Nakyejwe (ssi ge mannya ge amatuufu) eyalaba abatemu nga batwala mukulu we era n'ategeeza poliisi nti yeetegereza omu ku batemu eyali mu ssaati enjeru n'ekijaketi ekimyufu, nga wa maaso manene.

 kazigo mwe baggye omu ku batemu Akazigo mwe baggye omu ku batemu.

 

 

Okusobola okunoonyereza ku by'okuwamba n'okutta Nagirinya ne Kitayimbwa ofiisi enoonyereza ku misango gy'ettemu (Homicide) ewummuzzaamu ku fayiro z'emisango egimu, basobole okussa amaanyi gaabwe gonna ku fayiro y'abasse Nagirinya. 

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango Charles Twine yagambye nti ofiisi enoonyereza ku misango egy'ettemu (Homicide) etadde amaanyi gonna ku kunoonyereza abali emabega w'okuwamba n'okutta era nga waliwo obujulizi bwe bafunyeewo obuwa essuubi ery'amaanyi.

 Mu kunoonyereza kuno, ttiimu okuva e Kibuli yakwataganye n'abaserikale abalala okuva ku kitebe kya poliisi mu Kampala n'emiriraano era nga waliwo abantu ab'enjawulo abakoze siteetimenti n'okubuuzibwa bye bamanyi ku byonna ebyaguddewo.

 EBIZUUSE KU BE BAKUTTE E LUNGUJJA

1 Abamu ku bantu abaakwatiddwa e Lungujja bagambibwa okuba nga be bali mu kabondo akaakazibwako "Kolaasi" nga kigambibwa nti mwe muli abakolagana n'abatemu abawamba n'okutta abantu naddala nga bapangisiddwa. 

2 Bwe baba tebapangisiddwa kuwamba na kutemula, bye bakola ebirala okufuna ssente kwenyigira mu bubbi obw'okukozesa eryanyi n'emmundu. 

3 Abeebyokwerinda beezinze ku kabondo k'e Lungujja kubanga mu kitundu kumpi kye kimu mwe baawambira Susan Magara mu February 2018 ne bamutta nga basoose kumusalako bugalo ne babuweereza abazadde be bakakase nti bbo (abatemu) tebaseka!

 4 Mu kitundu kye kimu mwe battira n'omuvubuka Raphael Walugembe eyali mu mwaka ogwokusatu mu yunivasite y'e Nkozi mu May w'omwaka guno, bwe

yeekanga abazigu ab'emmundu ng'adda awaka era ne bamukuba amasasi agaamutta.

E Lungujja baakutteyo abantu bataano okuli; Moses Musoke, Ivan Makanga, Stephen Mugisha ne mukazi we, kw'ossa owa bodaboda omulala eyategeerekeseeko erya Willy.

 mutemu Omutemu

 Baabakutte mu zooni bbiri okuli Nabisasiro ne Lungujja Community Zooni.

Musoke owa bodaboda avugira ku siteegi ya Green Apple Fast Foods mu katawuni ka Busega Community, ye yalabikidde ku kkamera za Super Market era poliisi eteebereza nti alina ky'amanyi olw'abantu be yatambuza mu kiro we baawambidde Nagirinya, abateeberezebwa nti be baabadde mu lukwe.

Makanga ne Willy nabo ba bodaboda.

 Wadde abo baakwatiddwa, amaanyi amangi abeebyokwerinda bagatadde ku Mugisha gwe bateebereza nti alina akakwate ku bumenyi bw'amateeka obw'amaanyi era banoonyereza oba alina emmundu.

 Mu kumukwata waabaddewo okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula ekibinja ky'abantu ba Mugisha be yakubidde amasimu nga paatulo ya poliisi emusazeeko.

Poliisi bwe yagenze okumukwata, Mugisha yalemedde mu kikomera era n'akuba amasimu mangi, banne ne bakungaana wabula poliisi ng'ekozesa amasasi n'ebasinza amaanyi era n'abamu ku bbo n'ebakwata olw'okugezaako okulemesa abeebyokwerinda okukola emirimu gyabwe. 

Abaakwatiddwa babuuzibwa akana n'akataano okuzuula oba balina kye bamanyi ku mutemu alabikira mu kkamera za poliisi ng'avuga emmotoka ya Nagirinya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...