TOP

Ebyabaddewo nga Mugabe assa ogw'enkomerero

Added 7th September 2019

MUGABE yakutukidde mu ngalo za mukazi we, Grace Marufu. Embeera ng’etandise okukyuka, Grace yasoose kugumya bba nti, “Bob beera mugumu, tukkiriza Katonda nti ojja kuba bulungi…..”, wabula tekyasobose.

 Eddwaaliro ly’e Singapore Mugabe gy’abadde ajjanjabirwa. Ate waggulu Mugabe ng’ali ne mukyala we, Grace ne mutabani waabwe mu nnaku ezaasembyeyo.

Eddwaaliro ly’e Singapore Mugabe gy’abadde ajjanjabirwa. Ate waggulu Mugabe ng’ali ne mukyala we, Grace ne mutabani waabwe mu nnaku ezaasembyeyo.

Ebbali mu kasenge k'eddwaaliro eriyitibwa Gleneagles Hospital mu Singapore we babadde bajjanjabira Mugabe, waabaddewo omutabani asembayo obuto, Robert Junior era ono ye yasoose okutendewalirwa, amaziga ne gatandika okumuyitamu ng'alaba kitaawe afa!

Okuva Mugabe lwe yatwalibwa mu ddwaaliro ly'e Singapore gye yafiiridde, Junior abadde amubeera ku lusegere kubanga kitaawe abadde yamukwasa omulimu omunene ogw'okuwandiika ekitabo ku byafaayo bya Robert Gabriel Mugabe, omusajja eyakankanya ensi!

Ebigambo by'abadde awandiika, kitaawe y'abadde abimubuulira, nga ne Grace ali awo bbali okuwabula bba ku by'aba yeerabidde oba by'aba aleseeyo.

Ennaku ezisembyeyo, Mugabe abadde akaluubirirwa okwogera era ebigambo ebimu nga tebyatuka bulungi olw'obulwadde okumugonza.

Ennaku ezimu abadde ateekebwa ku byuma ebiyambako mu kussa kubanga obumu ku bulwadde obuludde nga bumutawaanya, bwa "Pneumonia" (Lubyamira) obukosa amawuggwe ne bukaluubiriza omuntu okussa.

Omukutu gw'amawulire e Singapore oguyitibwa The Strait Times gwategeezezza nti Mugabe babadde bamuteeka ku byuma ebiyambako mu kussa (oxygen) ng'embeera etabuse era ne we yafiiridde baabadde babimutaddeko okutaasa obulamu bwe.

Abamu ku bakola mu ddwaaliro baategeezezza The Strait Times nti mukazi we Grace akoze omulimu munene okujjanjaba bba era ne we yafiiridde, yabadde amuwembejja nga bw'amugumya nti, "Bob be strong, you will be fine…." Ekitegeeza nti, "Bob beera mugumu, ojja kuwona…".

Mu bbanga ery'emyaka 23 gye bamaze mu bufumbo, Grace abadde ayita bba "Bob" ng'alisala ku linnya lya Robert era abadde alikozesa mu ngeri ya kumulaga mukwano.

Wadde yali musajja wa maanyi nga ne we baamuwambira mu 2017 yali akyatambula bulungi, we yafiiridde nga tasobola kutambula.

Mutabani we, Junior y'abadde atera okumufulumya ebweru ng'amuvugira mu kagaali, okumutwala okwota ku musana era omukutu gwa Daily Mail gwalaze ebifaananyi ebyasembyeyo okumukubwa ng'ali ne Junior amuvugira mu kagaali.

Mugabe yabadde mu ngoye ezitera okwambalwa bannabyamizannyo (track suit).

Mugabe bazze bamubika enfunda nnyingi era oluvannyuma nga kizuulwa nti ssi bituufu; wabula ku luno Pulezidenti wa Zimbabwe eyakulembera abaamuwamba ye yamubise, era tewaabaddewo kubuusabuusa kwonna mu bannansi ba Zimbabwe n'ensi yonna okutwalira awamu.

Pulezidenti Emmerson Mnangagwa, okubika yakuyisizza ku mukutu gwe ogwa Twitter omutongole ku makya g'Olwokutaano n'ategeeza eggwanga nti: Mu nnaku eyeekitalo, mbategeeza nti kitaffe eyazimba eggwanga era Pulezidenti wa Zimbabwe eyasooka era mukwano gwaffe (Comrade) Robert Mugabe, afudde.

Obubaka bwe yabujjulirizza n'ebigambo bino: Comrade Mugabe ky'ekifaananyi ky'okwenunula kwa Zimbabwe n'okulwanirira eddembe ly'omuddugavu ku lukalu lwa Afrika.

Yawaayo obulamu bwe okutumbula eddembe ly'abantu be (Bannansi ba Zimbabwe), era by'akoledde eggwanga lino n'olukalu lwa Afrika okutwalira awamu tetugenda kubyerabira.

Omwoyo gwe, Mukama aguwummuze mirembe.

EYATUUSE MU DDWAALIRO AYOGEDDE EBYABADDEYO

Munnamawulire wa The Straits Times yategeezezza nti we yatuukidde ku ddwaaliro ku makya g'Olwokutaano nga Mugabe yaakakutuka, yategeezezza nti waabaddewo embeera ey'obunkenke ng'omulambo guggyibwa munda mu ddwaaliro okugutwala ku ggwanika.

Waabaddewo ttiimu bbiri okuli ttiimu y'eddwaaliro wamu ne ttiimu y'abantu ba Mugabe abaabadde bakulembeddwa omusajja eyayogeddwaako ng'eyabadde mu ssuuti enzirugavu ng'akutte bbendera ya Zimbabwe.

Oluvannyuma omulambo gwaggyiddwa mu ggwanika ne gussibwa mu mmotoka eriko ebigambo "Singapore Casket" ne baguvuga okugutwala mu kifo we baabadde balina okugutegeka gulyoke gussibwe ku nnyonyi enaaguzza e Zimbabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....