TOP

Obukenuzi bwa Grace ne Robert Mugabe ne

Added 8th September 2019

Omukago gwa Bulaaya bwe gwamuteekako natti okuva mu 2002 embeera y’okwejalabya n’ekendeera.

 Bamugabe

Bamugabe

Omwaka gwa 2014, Grace yayita abawagizi be e Mazowe mu Harare n'abamatiza nti ebyo bye bagamba nti bba alina obulindo bw'ensimbi bya bulimba.

Bino yabyogera bayimiridde mu maaso gaamayumba amatiribona g'azimbye n'ategeeza abantu nti Mugabe ye pulezidenti asembayo okubeera omwavu mu nsi yonna. Era tamulabangako ng'asaba omuntu yenna ssente.

Yafumbirwa Mugabe mu 1996 ku mbaga kwe baasasaanyiza obulindo bw'ensimbi era yayongera okwewuunyisa bannansi bwe yakwata ssente gavumenti ze yali etaddewo okulaba nga bakendeeza ku nsimbi ze basasaanya nga basasulira awookusula ye n'azizimbamu ennyumba ya bisenge 30 n'agituuma ‘Graceland'.

Ekwata omwami tereka muganzi, ono teyakoma ku nnyumba, yasikiriza bba Mugabe n'asasaanya 28,000,000,000/- okumuzimbira Olubiri e China. Olumu yalinnya ennyonyi n'agenda e Bufalansa n'agula emigogo gy'engatto 3,000 ku ssente za Uganda 560,000,000/-.

Grace Mugabe ensimbi tazeeguya newankubadde nga bannansi bangi beeyaguza luggyo, amayinja ag'omuwendo agaawunda awakawe yagalagiriza Vietnam ku ssente 310,800,000/-, gaalubindi z'omusana n'essaawa z'asiba zigula bukadde.

Muwala wa Mugabe Bona bwe yali afumbirwa, kigambibwa nti baagana abakuba ebifaananyi okukwata ebiraga eby'obugagga bwabwe. Mutabani waabwe Bellarmine Chatunga yatadde ekifaananyi ky'essaawa ya ddoola za Amerika 60,000 n'ateekako obubaka nti, bino by'oganyulwa nga kitaawo afuga ensi.

Balina amaka e Hong Cong, Grace alagiriza empeta za diamond ez'ebbeeyi okuva ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...