TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi b'ewa Kisekka batandise okuyingira amaduuka amapya

Abasuubuzi b'ewa Kisekka batandise okuyingira amaduuka amapya

Added 8th September 2019

ABASUUBUZI b’ewa Kisekka 174, bannannyini maduuka agawedde ku Block A, babuukira waggulu oluvannyuma lw’okutandika okugakoleramu era bakasitoma baabwe ab’enjawulo baatandise dda okubagulako.

 Yusuf Wangi omusuubuzi w’ewa Kisekka (ku ddyo) ng’alaga edduuka lye yayingidde.

Yusuf Wangi omusuubuzi w’ewa Kisekka (ku ddyo) ng’alaga edduuka lye yayingidde.

"Katonda kye yakkirizza nti kya kubeerawo omuntu ne bw'akirwanyisa era kimaliriza nga kikyo, nneebaza abasuubuzi abaalengerera ewala ne bakkiriza okuteeka ssente zaabwe mu nkulaakulana ne batakkiriza kubabuzaabuza nti kati essaawa eno batandise okukungula" Ssentebe w'akatale kano Robert Kasolo Kisembo bwe yategeezezza.

Bakira Kasolo ayogera bino ng'eno abasuubuzi baguza bakasitoma baabwe mu maduuka gabwe amapya ng'ate abalala bapangayo bintu.

Akulira omulimu gw'okuzimba akatale k'ewa Kisekka okuva mu kkampuni ya ROKO, Ying Allan Muganzi yategeezezza nti kituufu amaduuka 174, gawedde era abasuubuzi abasinga twamaze dda okugabakwasa wadde kino kirina bwe kitaataaganyizza omulimu gwaffe naye tulina okukolera mu mbeera yonna.

Wabula buli dduuka lye bayingira tulina okumala okulibakwasa mu butongole.

Ssentebe Kasolo yagambye nti ekkula lino lye batuuseeko limusanyusizza nnyo wadde agenze okukizuula ng'abasuubuzi, be basinga okubeera abasanyufu kubanga bakizudde nti twabagambanga mazima.

Ye omwogezi w'akatale kano Simon Peter Lubwama yategeezezza nti Block A, k'ewedde kati bali ku Block B, era emitayimbwa n'embaawo byayingiddewo dda ng'abasuubuzi bwe banaayongera okusasula ssente amaduuka amalala 356, nago gagenda kubakwasibwa mu myezi mukaaga egijja.

Yayongeddeko nti buli mwaka okuva 2012 babaddenga basasula ssente za ‘Ground rent' buli mwaka obukadde 76, nga balooya emisango egitaggwa baakatwala obukadde nga 400 n'endala nnyingi ezisasuddwa ku bintu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...