
Kivumbi ne mukyala we Nakkazi n’omwana waabwe awaka waabwe.
Bya JOANITA NANGONZI
Regina Nakkazi, ow'emyaka 22 agamba nti, omwami gwe yafumbirwa Eliab Kivumbi ow'emyaka 92 gwe yafuniramu emirembe era obufumbo bw'alimu bumweyagaza.
Anyumya bw'ati ku bufumbo bwabwe:
Baze andaze essanyu lye nali sirootangako
Bwe nafumbirwa omwami ansinga obukulu namanya nti, okubeera n'essanyu mu bufumbo tekyetaagisa kubeera na muntu bwe mwenkana mu myaka kubanga essanyu lye nnina kati mu bufumbo bwange lingi era nawona ennaku y'okubeera mu mbirigo n'abavubuka era sejjusa kusalawo kwe nakola.
Nafumbirwako omuvubuka eyandabya ennaku ne nkoowa abasajja mu biseera ebyo.
Omuvubuka oyo yasooka n'andaga omukwano nga tannantwala mu maka ge era nasooka ne mmwenyumirizaamu ng'andaga omukwano omuyitirivu era nalina essuubi okumala naye obulamu bwange bwonna.
Wabula kye nasuubira si kye nafuna. Olwafuna olubuto n'atandika okumpita amannya agavuma obulamu ne bunkaluubirira wabula ne nzaala omwana wange.
Yambonyabonya okutuuka lwe nazaala ate n'agaana okulabirira omwana wange. Eka baηηaana okuddayo okutuula ku luggya.
Mbeera nkyali ku olwo ne nfuna olubuto olulala embeera ne yeeyongera okuzibuwala. Natuuka nga nze mwami ate omukyala awaka kyokka nga nnina abaana babiri.

BAZE BWE YANJOGEREZA NAMUKKIRIZA MPONE ENNAKU Y'ABAVUBUKA
Kyannyanguyira okukwatagana ne baze Eliab Kivumbi wadde yali ansinga emyaka 70 kubanga namanya nti ajja kusobola okunzigya mu nnaku n'okuboonaboona kwe nali mpiseemu okumala ebbanga.
Ekyayongera okunsanyusa omwami gwe nali nfunye olwamukkiriza yansuubiza okunnyanjula mu bakadde bange n'okunkuba empeta abavubuka kye baali tebansuubizangako.
Nasalawo okusooka okubeera naye mmwetegeze ndyoke mufumbirwe era nagenda ne ntandika okubeera mu maka ge e Mityana mu kitundu ky'e Businziggo.
Namwetegereza okumala omwaka mulamba wabula nalaba enjawulo nnene eriwo wakati w'okufumbirwa omuvubuka n'akusinga obukulu.
Bannange abasajja abakulu balina omukwano omutuufu ogwannamaddala ogutaliimu bukuusa era omukwano gwabwe gubeera guva ku mitima.
Baze yandaga omukwano gwe nali sifunangako ogwanneerabiza ogw'abavubuka era n'ansikiriza okumufumbirwa.
Nali sirabanga ku musajja akukwata ng'ekyatika ate ng'ampa ekitiibwa eky'omukyala nga tampisaamu maaso ng'abavubuka bwe bakola.

Buli kye namusabanga yakimpanga mu budde kyokka ate bwe nali n'omuvubuka okumpa ekintu namalanga kumwegayirira.
Musajja mukozi ng'alina yiika y'emmwaanyi wabula buli ssente gye yatundanga mu mwaanyi ng'azinkwasa ne nsalawo mmeka ze tulina okukozesaako awaka ekitasangika mu bavubuka.
Tanvumangako wadde okunkuba era nga tamboggolera, olw'okwagala kwe yandaga, bwe yansaba okukyala mu bakadde bange nakkiriza mangu.
BWE YANKUBA EMPETA ESSANYU LYANGE LYEYONGERA
Ekituufu baze yatuukiriza obweyamo bwe yakola bwe yankuba embaga ekyayongera okumpa essanyu mu bulamu bwange era nayongera okukakasa nti, abasajja abakulu bwe basuubiza batuukiriza.
Yakyala mu bakadde bange mu mwezi ogwokutaano mu 2016 era mu December ne mmwanjula.
Nga December 16, 2017 yankuba embaga eyakankanya ekyalo nga n'okutuusa kati ku kyalo gye tubeera e Businziggo bakyaginyumyako, olw'omukwano baze gwe yayolesa ogutasobola kusiimuuka mu bwongo bw'abantu.
Baatugattira ku kkanisa ya Businziggo C/U e Businziggo era embaga yasomboola abantu be nali sirabangako era yali nnyuvu.
Baze yansuubiza okunjagala okutuusa okufa lwe kulitwawukannya. Era ku mbaga eyo yansuubiza okwongera okusanyusa obulamu bwange.
Mazima kituufu omwami ansanyusizza era mu bufumbo bwe tulimu sejjusa kuba tanjuza.
OKUTEREKA SSENTE ZA BAZE KIMU KU BINSANYUSA
Mu bufumbo bwaffe mulimu essanyu era twesigaηηana nga kino kyavaako n'omwami wange okunteresanga ssente z'atunda mu mwaanyi era nze mmutoolerako buli lw'abaako kye yeetaaga.
Kino nnali sikirabangako mu bufumbo bwe nasookeramu okumala ebbanga kuba eyo nafunayo kubonaabona kwokka.

Eliab Kivumbi bba wa Nakkazi anyumya bw'asanze obufumbo bwabwe mu ssanyu eritagambika.
Oluvannyuma lw'okufi irwako mukyala wange eyasooka ate n'owookubiri ne twawukana, mu nnyumba nasigalamu nzekka ekyampaliriza okuddamu okuwasa omuwala omuto asobole okundabirira.
Nasooka ne mpasa mu 1965 mukyala wange eyasooka Olivia Namigadde wabula yafa mu 1993, oyo nali mmuzaddemu abaana bana, nga basatu balenzi omu muwala wabula baafa ne nsigazaako omulenzi omu yekka.
Nalindako okuwasa okutuusa mu 1998 wabula omukyala omulala gwe nawasa twayawukana mu 2004.
Okuva olwo nasalawo okubeera obwomu wabula bwe nalaba ng'ekiwuubaalo kindi bubi ne nsalawo okuddamu okuwasa.
NSISINKANA EKIMULI KYANGE
Okusisinkana n'ekimuli kyange (Nakkazi), mikwano gyange bannyambako, waliwo mikwano gyange abandaba ng'ekiwuubaalo kinzita ne bampa ekirowooza eky'okufunayo omukyala era bwe nasisinkana Nakazzi ne mmwogereza ne tukkaanya okwagalana.
Nasooka ne mmwetegereza akaseera akawera ne ndaba nga muwala wa mpisa ne nsalawo okumuwasa era ne tugattibwa era obufumbo bwaffe bwegombesa abantu abalala.
NALAGIRA ABEEGWANYIZA NAKKAZI EKY'OKULWANYISA KYANGE
Nnina omuggo gwange gwe nkozesa nga eky'okulwanyisa ekinnyamba okulwanyisa abalabe bange n'abo abannumbagana nga baagala okunzibira mukyala wange.
Omuggo guno gulina we nkwata okugusimba nga ntambula nga mu guno mwe ntereka ekyambe kye nneekuumisa.
Nakiraga abantu ku mbaga ne mbalabula okuzannyira ku kimuli kyange.
MU BUFUMBO BWAFFE TUFUNIDDEMU EZZADDE
Omuganda agamba nti,obufumbo ye mwana era nnina essanyu lya nsuso kubanga mu bufumbo bwaffe kati tulinamu omwana wa mwaka gumu ate era mu kaseera katono tujja kuzaalayo omulala.
Muwala waffe ye Elizabeth Nalutaaya era tumwenyumirizaamu kuba yafuula obufumbo bwaffe obw'ensonga.
Wadde nga tuli basanyufu mu bufumbo bwaffe naye era tufunamu okusoomoozebwa okutonotono wabula Mukama atuyamba ne tukugonjoola.