TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni asuubizza abasomesa omusaala omusava

Pulezidenti Museveni asuubizza abasomesa omusaala omusava

Added 9th September 2019

PULEZIDENTI Museveni agumizza abakozi ba gavumenti naddala abasomesa nti waliwo essuubi ly’okutandika okufuna omusaala omusava okuva kkooti bwe yagaanyi ababaka ba palamenti okuddamu okwegerekera emisaala.

 Pulezidenti Museveni ng’assa omukono ku cceeke ya bukadde 50 ezinaaweebwa abasomesa 50 abasinze okusomesa obulungi. Yabadde mu lukuhhaana lw’abasomesa ba pulayimale olwa National Primary School Teacher’s Conference olwategekeddwa ku ssomero lya London College of St. Lawrence e Maya mu Wakiso ku Lwomukaaga.

Pulezidenti Museveni ng’assa omukono ku cceeke ya bukadde 50 ezinaaweebwa abasomesa 50 abasinze okusomesa obulungi. Yabadde mu lukuhhaana lw’abasomesa ba pulayimale olwa National Primary School Teacher’s Conference olwategekeddwa ku ssomero lya London College of St. Lawrence e Maya mu Wakiso ku Lwomukaaga.

Museveni era alabudde abasomesa abamu abakongolera mu mirimu n'agamba nti Katonda ajja kuwa empeera abo abakola omulimu guno mu mutuufu bwagwo era n'omutima gumu kuba obusomesa ‘kirabo' okuva ewa Katonda.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya St. Lawrence College, London Campus e Maya mu disitulikiti y'e Wakiso ng'ali mu lukung'aana lw'abasomesa olumaze ennaku essatu nga luyindira ku mulamwa: "Abasomesa ab'omutindo balina enkizo.''

Museveni yawadde ebirabo eri abasomesa 50 abasinga bannaabwe okukola omulimu guno n'abawa ne cceeke ya bukadde 50.

Ku bano abasomesa basatu abaasinze bannaabwe baaweereddwa 1,000.000/- buli omu. Yagambye nti oluvannyuma lwa kkooti okugaana ababaka ba palamenti okuddamu okwegerekera emisaala, abakozi ba gavumenti bajja kufuna akalembereza nabo bafune ku misaala egyegasa.

Yasabye abasomesa okukola emirimu awatali kwebalira n'agamba nti ye ne banne baaganyulwa nnyo mu basomesa olw'okuba (abasomesa) baakolanga obuteebalira mu kiseera ekyo.

Yeebazizza abasomesa abeemalidde ku kukola omulimu guno wadde embeera gye balimu ssi nnungi n'abagumya nti ebintu bijja kulongooka.

Minisita w'ebyenjigiriza, Janet Museveni, yeebazizza abasomesa olw'olukuhhaana luno n'agamba nti abasomesa basatu abasinze bannaabwe bajja kutwalibwa e Yisirayiri okulambula babeeko bye beeyongera okuyiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo