TOP

Ab'e Kalungu balangiridde amateeka amakakali

Added 9th September 2019

ABOOBUYINZA mu Kalungu balangiridde ebiseera eby’akazigizigi mu disitulikiti ne bassaawo ebiragiro ebikakali ku batambula obudde obw’ekiro.

 Meeya Gerald Ssennyondo ng’ayogera mu lukiiko.

Meeya Gerald Ssennyondo ng’ayogera mu lukiiko.

Bya Ssenabulya Baagalayina 
 
ABOOBUYINZA mu Kalungu balangiridde ebiseera eby'akazigizigi mu disitulikiti ne bassaawo ebiragiro  ebikakali ku  batambula obudde obw'ekiro. 
 
Kino kivudde ku ttemu erisitudde enkundi naddala ku  bavuzi ba bodaboda n'obubbi bw'ebintu ebitali bimu n'ebisolo awamu n'abateega abasuubuzi ekiro nga bannyuse.
    
Ebiragiro bye bataddewo
  •  Bamalaaya obutazibira basajja ababeesanyusirizaako ng'ekiro baliko ebibbe bye bakukusizza.
  •  Abachina b'omuceere mu Lwera, balagiddwa okuwa abakozi baabwe ebiboogerako nga bya njawulo okwongereza ku ndagamuntu.
  • Poliisi etukkize ebikwekweto ku nguudo zonna n'obubuga okulaba nga bataayiza buli mumennyi w'amateeka.
  •  Balandiroodi okwanjula abapangisa be basenzezza ku mayumba gaabwe n'ebiboogerako okuva gye bavudde.
  • Aba loogi obutasuza muntu yenna nga taggyiddwaako bimwogerako n'okwaza by'atambuliza mu bisawo.
  • Ab'ebikaali n'amabbaala obutakuba biddongo kusussa ssaawa 7.00 ez'ekiro n'ebimansulo biwereddwa.
  •  Aba LC okufuuzanga lunnye mu batuuze baabwe  bazuulemu abeesenzezaamu nga tebamannyiddwa era alipooti baziwengayo mu ofiisi ya RDC.
  • Abatambula ekiro nga zisusse essaawa 7.00,singa batamattama mu kwennyonnyolako bajja kusuzibwa mu kaddukulu ka Poliisi.
  • Abakulira ababodaboda babawandiikenga n'okulondoola ebibakwatako byonna.
  •  Abakeera okuzannya ppuulu, bbetingi n'amabbaala bawereddwa bunnambiro kuba ssente  ze batwalayo ziriko akabuuza.
 Bino  baabyanjulidde mu lukiiko lw'ebyokwerinda lwe batuzizza e Lukaya nga lwakuliddwa amyuka RDC, Hajat Sarah Nannyanzi, DPC ASP Abraham Tukundane, Meeya Gerald Majera Ssennyondo ne OC w'e Lukaya ASP Vienne Birungi.
 Abatuuze balwambaliddemu Meeya Ssennyondo nti akomye okubeewaanirangako n'okubatiisatiisa nti muserikale amannyi emmundu n'atabakwatira bamenyi b'amateeka babatigomya.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...