TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkamera ziyambye okulaga abatemu kyokka poliisi teyambye bakoseddwa

Kkamera ziyambye okulaga abatemu kyokka poliisi teyambye bakoseddwa

Added 9th September 2019

KKAMERA za poliisi ez’oku nguudo n’ezobwannannyini, y’emu ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni ekkumi ze yateekawo okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Awamu zibadde ziyambye ate awalala, abalina okuzeeyambisa okukwata abamenyi b’amateeka beesuuliddeyo gwannaggamba.

 Kkamera z’oku luguudo.

Kkamera z’oku luguudo.

Poliisi eri ku ddimu okubunyisa kkamera ku nguudo mwasanjala zonna mu ggwanga ne tawuni okwetooloola eggwanga okusobola okumalirawo ddala obumenyi bw'amateeka.

Nga April 26, 2019, Palamenti yakkiriza Gavumenti okwewola doola obukadde 104 mu za Uganda, 384,800,000,000/- okuva mu Standard Chartered Bank ez'okugula kkamera mu kaweefube w'okumalawo obumenyi bw'amateeka.

Emirundi mingi, kkamera zikutte abamenyi b'amateeka mu bifo eby'enjawulo kyokka ababa babbiddwa bwe batwala okwemulugunya kwabwe ku poliisi, tebayambibwa.

KKAMERA ZIYAMBYE OKULAGA ABATEMU ENFUNDA NNYA

Okuva poliisi lwe yatandika okubunyisa kkamera ku nguudo mwasanjala n'ebibuga mu ggwanga, eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura yalagira abantu abeesobola okuteeka kkamera ku bifo we bakolera.

Mu ttemu lya mirundi ena, kkamera z'obwannannyini zikutte abatemu enfunda ssatu n'eza poliisi ne zikwatayo omulundi gumu n'abanyakula amasimu n'obusawo mu kalipagano k'ebidduka.

Nga June 30, 2019, kkamera z'essomero lya St. Marcelino e Mengo Kakeeka, zayambye nnyo poliisi okukwata akabinja k'abatemu Young Mulo ne John Bosco Mugisha abaatuze owa bodaboda Derrick Mulindwa oluvannyuma ne bamukuba ennyondo emirundi musanvu nga tebannatwala pikipiki ye.

Bright Kaliisa, abatemu ab'ebijambiya baamuteeze ku mulyango gwe nga July 29, 2019 ne bamutemaatema ne batwala ebintu bye ebyomu nnyumba.

Poliisi okukwata abatemu, yeesigamye ku katambi ka kkamera eziri ku kizimbe Kaliisa kw'apangisa ezaakutte abatemu.

Nga August 28, kkamera za Supermarket ya Green Apple Fast Foods e Lungujja, ze zaasoose okulaga abatemu abaawambye omuwala Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa ne babatta emirambo ne bagisuula e Mukono mu lusenyi lw'e Nakitutuli ku kyalo Ttakajjunge.

Kkamera za poliisi e Kinnawattaka, nazo zaakoze omulimu munene okukwata ekifaananyi ky'omusajja eyabadde mu kikooti ekimyufu nga munda ayambadde essaati njeru n'enkoofi ira ku mutwe eyabadde mu mmotoka ya Nagiriinya.

Omusajja ono, muto wa Nagiriinya gwe yali abeera naye e Lungujja mu Nabisasiro zooni gwe yalaba ng'ali n'omusajja omulala nga basitudde Nagiriinya bamusindika mu mitto gy'emmotoka emabega nga tebannamubuzaawo.

Poliisi yasaasaanyizza ebifaananyi by'omusajja eyakwatiddwa ku kkamera abantu bagiyambeko okumuzuula.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, Merina Tumukunde yattiddwa n'omusajja omulala Joshua Nteireho nga bali mu mmotoka kika kya Toyota TX ku Entebbe Express Way. Abaabasse baabakubye masasi.

Mu mmita nga 100 okuva we baabattidde, waliwo kkamera ya poliisi era eno, yabadde ekwata ebyabadde bigenda mu maaso byonna.

Ebifaananyi ebyakwatiddwa, poliisi by'esuubira okweyambisa okukwata abatemu n'okuzuula ekituufu ekyabaddewo.

Enfunda nnyingi poliisi ezze yeeyambisa kkamera naddala ezaateekebwa ku ssaawa ya kkwiini okukwata abanyakula obusawo n'amasimu mu kalipagano k'ebidduka ku Shoprite ne batwalibwa mu kkooti.

BAAKANZIBA EMIRUNDI ESATU, POLIISI TENNYAMBYE

David Kizito Sengoye, alina supermarket mu Kakajjo e Bweyogerere agamba nti, ababbi baakamubba mu dduuka enfunda ssatu.

Enfunda ebbiri, baatwala ebintu ate omulundi omulala, omukuumi yabakanga ne badduka.

Yagambye nti bwe baasooka okumubba, baasala eddirisa ne bayingira ne beggulira oluggi lw'emmanju ne batwala bye baayagala ate omulundi ogw'okubiri, baali bapanze obutebe bawalampe bayite mu bumooli bagwe munda omukuumi n'abalabuukirira.

Yagambye nti, bwe baamubba enfunda ezo, yasalawo okufuna kkamera aziteeke ku dduuka ezamuyambye okukwata ababbi nga July 26, 2019 lwe baamubbye emisana ttuku.

Ababbi bataano, baagenze ku dduuka lye nga beefudde abaagala okugula ebintu, omu ku bawala yabadde ayoza ngoye ate omulala ng'ali mu dduuka.

Omu ku babbi yagenda awaali ayoza engoye n'amuliimisa ate omulala n'asigala ng'alabiriza.

Omubbi owookusatu yagenda ku kkaawunta awali omuwala omulala eyali asigadde munda olwo ababiri ne bagenda mu masa ne bapakulula omwenge n'obuloosa ne babitwala.

Kkamera zaabalaba kyokka abaserikale bwe baagenzeeyo, ababbi baabalabye naye tewali kye baakozeewo nga kati kyasigadde eri ye okweyiggira ababbi.

Yagambye nti, akimanyi poliisi teyamba bantu babbiddwa kubanga ebintu byafuuka bya nguzi okufuna obwenkanya ate bw'otwalayo omusango, abaserikale banoonya ababbi ne babafuna ne babaggyamu ssente ne babata.

"Eggwanga lyaffe obumenyi bw'amateeka Katonda yekka yamanyi ddi lwe bulikoma kubanga abalina okutuyamba tebeefi irayo ne kkamera ze twagula tulinga abamala ebiseera." Ssengoye bwe yagambye.

MUGANDA WANGE BAAMUTULUGUNYIZA MU MAASO GA KKAMERA

Mu kitundu ky'e Kyengera mulimu kkamera eziwera ekkumi naye bw'ofuna obuzibu mu maaso ga kkamera tosobola kuyambibwa mu kufuna katambi kkamera ke yakutte.

Tom Ssebugwawo ng'ono kansala w'e Kyengera Central era mutuuze agamba nti muganda we, Joseph Sewankambo gwe baatulugunyiza mu maaso ga kkamera ng'ekirungi teyafa, naye baagenda ku poliisi nga basuubira okuyambibwa okuyita ku kkamera ng'ebawa obutambi bwe yakwata basobole okukwata abaamutulugunya naye tebaayambibwa.

"Bwe twatuuka ku poliisi abaserikale baatugamba nti eyo kkamera ebadde tennaba kutandika kukola, era ne batugamba nti tebalina kya kutukoleera. Twavaayo ku poliisi nga tetuyambiddwa. Nze ng'omukulembezenalaba nga zino kkamera ziriwo nga kiguumaaza. Ebifo ebiriraanye Kampala bye bisuubirwa okubaamu kkamera ezikola naye ate mu byalo olwo kinaaba kitya?"

Agattako nti poliisi yeesuuliddeyo gwannaggamba ku kukuuma abantu, tekyakola nga bwe kyali edda nga paatulo eyitamu n'erawuna, beesize kkamera nti ziraba kyokka nga ne bwe ziba zirabye tebalondoola, ne kiwa omubbi oba omutemu okugenda mu maaso ng'akola byonna by'ayagala.

ENGERI ABAAGALA OBUYAMBI KU BYA KKAMERA GYE BABONAABONA

Francis Lubowa, kitaawe wa Nagirinya yagambye nti, ssinga poliisi yabadde ekoze obwangu, yandibadde esobola okweyambisa kkamera n'ekwata abatemu nga muwala we tannattibwa.

Yannyonnyodde nti, bwe baawambye muwala we, yasitukiddemu n'agenda e Lungujja gy'abadde asula we yavudde okugenda ku poliisi y'e Busega - Kibumbiro Nakidde gye yabadde addukidde okuggulawo omusango.

Yagambye nti, ku poliisi ya Kibumbiro baabakozeeko kyokka ne babasindika e Nateete awali kkamera kwe basobola okulabira mmotoka gye yabadde akutte.

We baawambidde Nagiriinya, waliwo obuwanvu bwa mmita nga 300 okutuuka awali kkamera ya poliisi era abazadde baabadde basuubira nti, basobola okweyambisa kkamera okulaba abazigu we baabadde bakutte ne basobola okubasalako nga tebannagenda wala.

Lubowa yagambye nti, bwe baatuuse ku poliisi e Nateete, baasanzeewo omuserikale eyabadde awanise amagulu ku mmeeza n'omulala eyabadde mu ngoye eza bulijjo ne babagamba nti balina kugenda Katwe.

Bwe baatuuse e Katwe, ab'e Katwe baagezezzaako okukebera ku kkamera ne babagamba nti, mmotoka bagirabye edda Kinawattaka ne basemba okugiraba ng'eri Kireka egenda wabula ng'erimu omuntu omu eyabadde ayambadde jjaketi emmyufu.

Yagasseeko nti, ab'e Katwe baabasindise ku poliisi ya Old Kampala ne babagamba nti be balina kkamera eziraba okusukka Kireka.

Bwe baatuuseeyo, yagambye nti baabavuluze ne bababuuza nnamba ya kkamera eyasembye okukwata mmotoka mwe baawambidde Nagiriinya.

Yagambye nti, baabagambye baddeyo e Katwe n'ab'e Katwe ne babagamba nti, babadde tebalina ngeri yonna gye basobola kubayambamu ne babasindika baddeyo e Nateete.

Bazzeeyo e Nateete ate abaayo ne babagamba nti, balina okudda e Katwe kubanga be bakola ku kkamera ezaakutte mmotoka ng'etwala Nagiriinya.

Yagambye nti, e Katwe baabagambye nti bakwatagane n'amyuka akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Kampala South eyalagidde ab'e Nateete okutuyamba wabula era ne babazzaayo e Katwe.

Yagambye nti, omuserikale gwe baasanze e Katwe yabagambye nti, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi e Nateete ye yabadde ateekeddwa okugoberera ensonga sib a famire kuzunga wano na wali.

BANZIBA MU SUPAMAKETI NAYE SAAYAMBIBWA

Jennifer Nakibuuka alina Supamaketi e Bulenga y'omu ku balina obulumi oluvannyuma lw'ababbi okunyaga ebintu ne babitwala wabula kkamera ne zibakwata.

Nakibuuka yatwala okwemulugunya ku poliisi era ne bamutegeeza nti bali mu kunoonyereza, wabula gugenda mu mwaka ng'ababbi tebakwatibwanga. Obulumi bwa Nakibuuka tebwawukana ku bwa Kato Mulongo alina situdiyo e Wandegeya ku University Plaza.

Ababbi baamenya edduuka mw'akolera ne banyaga kompyuta ze n'ebintu ebirala ebyali mu dduuka kyokka kkamera eziri ku kizimbe ne zibakwata.

Ekyewuunyisa, ekizimbe kiriko omukuumi naye yalaga nti teyamanya ku bya kumenya dduuka lya Kato.

Ensonga Kato yazikwasa poliisi y'e Wandegeya era n'agikwasa n'akatambi akaakwatibwa kkamera nga kalaga omubbi ng'amenya era nga kamulaga ng'afuluma edduuka n'ekisawo mwe yali apakidde kompyuta.

Poliisi yakwata omukuumi ayambeko mu kunoonyereza wabula oluvannyuma n'emuyimbula era ensonga zino nazo zikunukkiriza mu mwaka nga tewali kituukiddwaako mu kukwata abatemu abalabikira ku kkamera.

KKAMERA ZITUYAMBYE OKUKWATA ABABBI - POLIISI

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti, kkamera zibayambye okukwata ababi, abatemu n'abamenyi b'amateeka abalala.

Yagambye nti, kkamera ze zaabayambye okukwata abamenyi b'amateeka abawerako ne babatwala ne mu kkooti. Yagambye nti, kkamera ze zaabayambye okukwata Young Mulo, John Bosco Mugisha n'akabinja konna bwe babadde batta ababodaboda, mu Kampala wakati, zibayambye okukwata abanyakula amasimu n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...