TOP

Poliisi ekutte abadde alimira enjaga ku mabaati

Added 10th September 2019

MEDDIE Mugerwa ow’omu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe akwatiddwa poliiis y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’abatuuze okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati. Abaserikale nga bakulembeddwa omumyuka wa OC, Twahir Kasembeza baakutte Mugerwa n’enjaga ne bagiwanulayo ku mabaati waggulu.

MEDDIE Mugerwa ow'omu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe akwatiddwa poliiis y'oku Kaleerwe oluvannyuma lw'abatuuze  okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati. Abaserikale nga bakulembeddwa omumyuka wa OC,  Twahir Kasembeza baakutte Mugerwa n'enjaga ne bagiwanulayo ku mabaati waggulu.

Wadde abatuuze baamulumirizza nti enjaga yiye, Mugerwa yagambye nti ya mutabani wa nnannyini mayumba kyokka oluvannyuma n'akkiriza nti agikozesa nga ddagala lya nkoko. Musa Kakande omutuuze w'omu Ssebina Zooni yategeezezza nti waliwo n'ebifulukwa ebitaliiko mabaati waggulu  mu bitundu by'e Kawempe  ebyasimbwamu enjaga  abagivunaanyizibwako bwe bakwatibwa bagamba ddagala lya nkoko ekitali kituufu .

"Nsaba poliisi esitukireemu wadde waliwo enjaga eva mu byalo naye mu Kawempe mulimu erimu ng'ate  abakulembeze abamu bakimanyiiko …" Kakande bwe yategeezezza. Mugerwa baamugguiddeko omusango gw'okulima enjaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana atangaazizza ku...

Spice Diana atangaazizza ku nsonga za AS Roma

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira NUP wamu n'abakungu b'e Mmengo ne bannabyafuzi abaawerekeddeko Kyagulanyi nga beekubisa ekifaanyi ekyawamu

Ebyabaddewo nga Bobi Wine a...

KAABADDE katuubagiro nga munnabyabufuzi era omukulembeze w'ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi...

Omugagga Katumwa

Poliisi ekyalemedde omugagg...

OMUGAGGA David Katumwa eyeesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’e Nansana we bwawungeeredde eggulo...

Nneebaza Katonda okumpa omu...

NZE Peter Mugisha, mbeera wano mu Kampala era mwe nkolera emirimu gyange. Ekikulu kya byonna, ndi musajja mulokole...

Njagala kugatta muganzi wan...

Ssenga nasobezza muganzi wange naye saakikoze mu bugenderevu. Yajja awaka nga simanyi kubanga teyah− hamba. Kyokka...