TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bambega beesibye ku muwala Fortune Ayebare ku bigambibwa nti yeetaba mu kutta Nagirinnya

Bambega beesibye ku muwala Fortune Ayebare ku bigambibwa nti yeetaba mu kutta Nagirinnya

Added 11th September 2019

Bambega beesibye ku muwala Fortune Ayebare eyakwatibwa ku bigambibwa nti alina ky’amayi ku kutemula Nagirinya.

 Ayebare eyakwatiddwa

Ayebare eyakwatiddwa

Ayebare yakwatibwa bambega b'amagye aba CMI kyokka famire ye n'erowooza nti yali awambiddwa. Kyazuuka nga yali akwatiddwa ku bya Nagirinya.

Essimu ye yazuulwa nga y'emu ku zaasembayo okukozesebwa okwogera ne Nagirinya nga tannattibwa.

Kyategeezeddwa nti bambega bwe baabuuza Ayebare enkolagana ye ne Nagirinya yategeeza nga bw'atamulinaako kakwate.

Okuggyako essimu ye yali ebbiddwa nga kirabika abaagibba be baagissaamu layini okukubira Nagirinya.

Kyokka bambega bagamba nti baafunye amawulire ne balondoola, agalaga nti Ayebare yali mu mmotoka Prado mwe baatwalira Nagirinya e Mukono okumutta.

Kyokka aba famire ya Ayebare baawakanyizza eky'omuntu waabwe okubeera mu by'okuwamba Nagirinya.

Ronald Ainomugisha mwannyina wa Ayebare yagambye nti ng'obutemu tebunnaberaawo Ayebare yamukubira n'amutegeeza ng'essimu ye bwe yali ebbiddwa era yamusaba amuwe ku nnamba z'abooluganda lwabwe ze yalina.

Yagambye nti Ayebare muwala muntumulamu atalina ngeri gye yandikoze misoni za butemu kubanga akola mu kkampuni ya Beetingi era omusaala gwe mutono. Ebiseera ebisinga tabeera na ssente.

Ssinga akola ddiiru ezo yandibadde bulungi. Kyandiba ng'abatemu, babba essimu ya Ayebare ne bagyeyambisa mu misoni yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...