TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga wa Rema ayogedde ku biriwo ne kabiite we omupya

Ssenga wa Rema ayogedde ku biriwo ne kabiite we omupya

Added 11th September 2019

SSENGA wa Rema Namakula agambye nti nga famire bakkirizza muwala waabwe okufumbirwa Hamzah Ssebunya kubanga ewa Kenzo babadde mu bufumbo bwa kito.

 Rema ne Hamzah. Ku ddyo, Rema ng'amema

Rema ne Hamzah. Ku ddyo, Rema ng'amema

Bya MARTIN NDIJJO NE HAFSWA NANKANJA

Sarah Nabatanzi eyasangiddwa mu maka ge e Kyengera - Nkokonjeru Zooni yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng'ebbanga ery'emyaka ettano Kenzo gy'amaze ne Rema ne bazaala n'omwana tabakyalirangako kyokka Hamzah mu kabanga akatono asobodde okugenda n'abalabako.

"Okuggyako okuwulira nti Rema abeera ne Eddy Kenzo nze Kenzo simulabangako era ndowooza Rema abadde abeera na mukwano gwe so ssi bba, kubanga tamutwanjulirangako."

Nabatanzi eyabadde ayogeza essanyu yagasseeko nti, "Wadde Rema tumutwala ng'omwana, muntu mukulu eyeesalirawo kale bw'aba ng'aleesewo Kenzo agende ne Hamzah tewali buzibu era tetusobola kumugaana kubanga ye mwami gw'asimye mu bangi.

Rema tumwagaliza bufumbo obuli siriyaasi era tumusabira mirembe n'obufumbo obulungi ne Hamzah era lino ly'essanyu ly'omuzadde yenna," Nabatanzi eyabadde ayogeza essanyu bwe yagambye.

Mu nteekateeka ezigenda mu maaso ng'abooludda lwa Rema beetegeekera muwala waabwe okubanjulira omulenzi we omupya mu butongole, batandise okutuuza enkiiko mu mbeera ey'okusisinkana n'okubaako bye basalawo era Rema yakozesezza omukisa gw'olukiiko olwatudde e Kyengera ku Lwokutano okutwala Hamzah ayongere okusisinkana abooluganda lwe n'okubamanya.

Abantu abalabye Hamzah ng'agenze e Kyengera abasinga baalowoozezza nti agenze kukyala wa ssenga olw'ebintu bye yagenze nabyo.

Kyokka Issa Musoke, ssentebe w'olukiiko oluteekateeka okwanjula kwa Rema yategezezza nti Hamzah yabadde awerekeddeko Rema, omukolo gw'okukyala mu butongole ewa Ssenga gugenda kubeerawo mu maaso awo.

Nabatanzi era yalaze okutya n'okusoomoozebwa muwala we (Rema) kw'ayitamu olw'ebigambo ebiyitiηηaana naddala ku mikutu gya ‘social media' omuli n'abantu abamu okwogerera bba (Hamzah) ebisongovu n'abo abagamba nti obufumbo bwabwe tebugenda kuwangaala.

Yagambye nti agoberera ebigenda mu maaso era yeewuunya abantu abakuma omuliro mu bantu n'okutandikawo entalo nga bateekawo ebibinja omuli ttiimu Eddy Kenzo ne ttiimu Rema.

"Nsaba abantu bonna baagalize Rema obufumbo obulungi kubanga ayise mu bingi lwakuba tebabimanyi kuba abadde tabyogera. Bwe kiba nga kye kiseera kye okufuna essanyu tewali nsonga ate abalala bamwogerera amafuukuule." Bwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...