TOP

Bugingo alaze ssente zaasaasaanya ku Teddy

Added 12th September 2019

PAASITA Aloysius Bugingo awakanyizza ebyayogeddwa mukyala we, Teddy Naluswa nti taweerera baana be n’agamba nti bya bulimba.

Bya PETER SSAAVA
 
PAASITA Aloysius Bugingo awakanyizza ebyayogeddwa mukyala we, Teddy Naluswa nti taweerera baana be n'agamba nti bya bulimba.
 
Bino biddiridde Teddy okuvaayo n'ategeeza nga bba bwatakyaweerayo baana fiizi era ensonga n'azitwala ewa minisita avunaanyizibwa ku by'abaana, Florence Nakiwala Kiyingi akake bba atuukirize obuvunaanyizibwa bwe ng'omusajja.
 
Ng'asinziira mu lukuhhaana lwa bannamawulire eggulo ku ofiisi ze e Lungujja, Bugingo yategeezezza nti Teddy by'ayogera alina ebigendererwa bye birala era eby'okugamba nti taweerera baana yalimbye ggwanga.
 
Yagambye nti omwana we, Doreen Bugingo yamuweerera okutuusa lwe yamaliriza emisomo gye e Makerere n'akuguka mu by'amasimu nga zaali ssente ze n'amaanyi ge okulaba nga muwala we amaliriza.
 
Yagambye nti abaana be abalala bonna abasoma abaweerayo ssente ku masomero nga tewali n'omu gwe babanja nga kuno ateekako n'abantu abalala baayamba mu kubasasulira ebisale by'amasomero.
 
"Sirina ssomero mwana wange gyasomera nga babanja era Teddy by'agamba nti siwerera baana alimba era nnina obukakafu obulaga nti nzize nsasula ssente okuva abaana bange bwe baayingira mu ssomero." Bugingo bwe yagambye.
 
Yakyukidde mukyala we Teddy Bugingo olw'okugamba nti tamulabirira n'ategeeza nti buli mwezi asaasaanya 3,200,000/- ku bintu byonna ebikozesebwa awaka.
Ku zino emitwalo 20 zigula amafuta g'emmotoka buli wiiki etambuza omwana omuto okugenda ku ssomero e Lubowa ate emitwalo 20 amalala buli wiiki ne gagula amafuta g'emmotoka etambuza muwala we okumutwala ku Yunivasite e Makerere.
 
Emitwalo 40 Bugingo agamba nti aziwaayo kugula bikozesebwa awaka omuli eby'okulya n'okusasula abakuumi abakuuma awaka nga zino zonna aziwaayo buli wiiki.
 
Yagambye nti buli wiiki afuba okulaba ng'emitwalo 80 gituuka ewa Teddy era alina obukakafu bwa lisiiti eziweebwa eyaweebwa omulimu gw'okuweereza Teddy ssente.
 
"Ebyo byonna ne mbikola omukazi n'asigala ng'agamba nti sirina buyambi bwe mbawa ndaba ng'aba alimba kuba nnina obukakafu obulaga nti nteekayo ssente. Teddy aleke kuwuddiisa bantu nti sirina kye mmuwa kuba kimpisa bubi ng'omuzadde ssaako n'abaana bange bwe bawulira bino," Bugingo bwe yayongeddeko.
 
Yagambye nti alindirira bupapula bwa bbanka okusasulirwa fiizi okuva ewa Teddy n'eza ttaamu eno azisasule n'agattako nti by'ayogera nti muwala we ali ku Yunivasite bamubanja bya bulimba kubanga talabangayo Yunivasite ekuba ssimu ng'ebanja ssente nga ssomero lya pulayimale nga Teddy bw'ayagala okukiraga.
 
Bugingo yagambye nti bwe kinaaba kyetaagisa ajjanga kukwata ssente za fiizi aziwe minisita Nakiwala Kiyingi eyo Teddy gy'anaaziggyanga n'olwo luggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...