TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya mu Amerika

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya mu Amerika

Added 15th September 2019

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga eryo n’eragira ebyobugagga bye ebiri mu Amerika bikwatibwe.

Ekiragiro ekyokuwera Kayihura okugenda mu Amerika n'ebyobugagga bye okukwatibwa kyayisiddwa ekitongole ekiyitwa ‘Offi ce of Foreign Assets Control (OFAC), ekyaweereza obubaka eri ebitongole byonna ebya Amerika omuli n'ekitebe kya Amerika mu Uganda okussa mu nkola ekiragiro ekyo.

Amerika egenze okussa akazito ku Kayihura nga kyenkana amaanyi gaamuggwa dda.

Yaggalirwako emyezi kumpi esatu nga mu kiseera kino awerennemba n'emisango emikakali gye yaggulwako mu kkooti y'amagye ate nga n'embeera ey'obulamu bwe teyeeyagaza nga kigambibwa nti mukosefukosefu.

Omuwandiisi w'eggwanika ly'ensimbi mu kitongole ky'Amerika ekirwanyisa obutujju n'okulondoola ensimbi ekiyitibwa Department of Treasury for Terrorism and Financial Intelligence Sigal Mandelker, yagambye nti ekiragiro ekyayisiddwa kitegeeza nti ebyobugagga bya Kayihura byonna by'alina mu Amerika, oba ebyo by'alinako akakwate konna, nabyo byakuboyebwa.

Mandelker yagambye nti ebyo baabisazeewo oluvannyuma lw'okunoonyereza ne bazuula ebikolwa bya Gen. Kayihura eby'okutulugunya n'okutyoboola eddembe ly'omuntu mu kiseera bwe yali IPG.

"Gavumenti ya Amerika, emaliridde okufutiza abo bonna abeenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu, obukenuzi, n'obulyake eri abantu sekinnoomu, n'amawanga okwetoloola ensi yonna," ekiwandiiko bwe kyongera okulambika.

Amerika, era erumiriza Gen. Kayihura, n'ebitongole bye ebirala okuli ekya Flying Squad Unit (FSU), wamu ne Nalufeenya Special Investigations Centre (NSIC), okutulugunya abasibe nga babakuba ebigala by'emmundu n'emiggo, n'okuwa abamu ssente okusobola okulumiriza bannaabwe abatalina kye bamanyi ku misango Kayihura egya nnaggomola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...