TOP

Supreme Mufti avumiridde 'safe houses'

Added 15th September 2019

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa ekifaananyi ekibi nti mu Uganda mulimu okutulugunya abantu, n’awa amagezi nti abantu abateeberezebwa okuzza emisango baggalirwe mu makomera amatongole.

 Supreme Mufti Ndirangwa ng’ayogerera ku mukolo omwami w’omuluka gw’e Nakasero IV, Hajji Ndugga(amuliraanye). Owookubiri okuva ku kkono ye mwami atwala eggombolola ya Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male. Asooka ku kkono ye Stephen Muyunga amyuka Sipiika w’olukiiko. Abakulembeze b’e Kira nga basala keeki eyabatoneddwa aba Kamuli Zooni C. Wakati ye meeya Mutebi , ng’addiriddwa Sipiika Ssemukuye, n’abalala. Ben Kasolo ow’ebyobuwangwa mu kika ky’Effumbe, ye yakiikiridde omukulu w’ekika, Omutaka Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya I, ku mukolo guno n’asaba abatwala ekibuga Kampala

Supreme Mufti Ndirangwa ng’ayogerera ku mukolo omwami w’omuluka gw’e Nakasero IV, Hajji Ndugga(amuliraanye). Owookubiri okuva ku kkono ye mwami atwala eggombolola ya Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male. Asooka ku kkono ye Stephen Muyunga amyuka Sipiika w’olukiiko. Abakulembeze b’e Kira nga basala keeki eyabatoneddwa aba Kamuli Zooni C. Wakati ye meeya Mutebi , ng’addiriddwa Sipiika Ssemukuye, n’abalala. Ben Kasolo ow’ebyobuwangwa mu kika ky’Effumbe, ye yakiikiridde omukulu w’ekika, Omutaka Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya I, ku mukolo guno n’asaba abatwala ekibuga Kampala

Bino yabyogeredde mu katale e Nakasero ku mukolo okwatuliziddwa Hajji Mohammad Ndugga Walusimbi eyalondeddwa ku bwami bw'omuluka gwa Nakasero IV mu ggombolola ya Kampala Masekkati mu ssaza ly'e Kyaddondo.

"Tulwanyise effugabbi. Kye nsuubirwa ku ludda olwo, abantu bwe babeera nga balina kye basobezza nga Bannayuganda kubanga teri awagira bikolwa bikyamu,batwalibwe mu mbuga z'amateeka balamulwe naye ebiyumbayumba ebifaanana bwe bityo mwe batugumbulira abantu, kifaananyi kibi mu Uganda n'ebweru waayo.

Ka nsabe Katonda ayongere emirembe n'obutebenkevu mu Uganda," Sheikh Ndirangwa bwe yagambye.

Shiekh Ndirangwa yazzeeko kuvumirira ettemu erisusse mu ggwanga, n'asaba bannaddiini banne okutandika okuwaayo essaala ez'enjawulo, Katonda asobole okutaasa eggwanga lino era n'akubiriza abasuubuzi okwetegekera okukozesa enkola ya ‘Islamic banking'.

Akola nga omwami w'essaza ly'e Kyadondo, Kaggo Agnes Nakibirige Sempa yeebazizza aboomuluka guno okukola emirimu obulungi egifudde essaza ly'e Kyaddondo okuvuganya n'amaanyi mu mpaka z'ebikolebwa mu gavumenti ez'ebitundu, mu Bwakabaka n'ebitundu ebirala.

Ku mukolo gwe gumu kw'atongolezeddwaako enteekateeka y'okukuhhaanya oluwalo nga kino kyakoleddwa Omwami w'eggombolola eno, Henry Kawuma Male era n'asaba olukiiko lw'omuluka olwatongozeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa, bakubirize abantu okwenyigira mu mirimu gy'Obwakabaka era bayonje akatale k'e Nakasero katuukane n'omutindo.

Hajji Ndugga eyatuuziddwa n'olukiiko lwe, beeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweereddwa nga bafuula Nakasero omuluka ogusinga okuwagira emirimu gy'Obwakabaka.

Omumbejja Mariam Nassuuna, Maxensia Nakijoba ne Christine Sserunjogi be bamyuka ba Hajji Ndugga.

Supreme Mufti avumiridde ettemu Supreme Mufti Ndirangwa ng'ayogerera ku mukolo omwami w'omuluka gw'e Nakasero IV, Hajji Ndugga(amuliraanye).

Owookubiri okuva ku kkono ye mwami atwala eggombolola ya Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male. Asooka ku kkono ye Stephen Muyunga amyuka Sipiika w'olukiiko.

Abakulembeze b'e Kira nga basala keeki eyabatoneddwa aba Kamuli Zooni C. Wakati ye meeya Mutebi , ng'addiriddwa Sipiika Ssemukuye, n'abalala.

Ben Kasolo ow'ebyobuwangwa mu kika ky'Effumbe, ye yakiikiridde omukulu w'ekika, Omutaka Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya I, ku mukolo guno n'asaba abatwala ekibuga Kampala okutuuma enguudo zaakyo amannya agakiikirira bannansangwa b'ekitundu kino okusinga okusigala nga zikyatuumiddwa amannya g'Abazungu abafuzi b'amatwale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo