TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Nalaga Abamerika bannaffe be batta we baaziikibwa'

'Nalaga Abamerika bannaffe be batta we baaziikibwa'

Added 17th September 2019

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.

 Ssenfuka (ku kkono) alumiriza nti baamwokya ppaasi ng’ali ne banne bwe baakwatibwa ku bya Kaweesi. Wano baali mu kkooti.

Ssenfuka (ku kkono) alumiriza nti baamwokya ppaasi ng’ali ne banne bwe baakwatibwa ku bya Kaweesi. Wano baali mu kkooti.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, LAWRENCE KITATTA ne HANNINGTON NKALUBO

Yategeezezza nti essanyu lye lisinze kuva ku bujulizi ye ne banne abazze batulugunyizibwa bwe baawa bambega ba FEDERA L Bureau OF INVESTIGATIONS (FBI) okubukozesa obulungi.

Yagambye nti ye (Bukenya) yatambuza bambega ba Amerika mu bifo ebyenjawulo n'abalaga n'ezimu ku ntaana abamu ku battibwa we baaziikibwa.

"Ebyo bye baatadde mu lipooti ffe twabibagamba. Bambega baatuyita tubayambeko okunoonyereza ku kutulugunya era ne tukikola."

Yayongeddeko nti, "abantu bangi baakaaba ku mulembe gwa Kayihura kyokka nga tebalina musango.

Yalina abaserikale abakambwe ate nga bakola buli ky'abalagidde awatali kumuwakanya.

Byonna yali abimanyi bulungi era Amerika bye yafulumizza bituufu kubanga yabikung'aanyizza ku bantu bangi.

Olumu twaali e Nalufenya ekiro ku ssaawa 9:00 nga omunene Kayihura atuuse.

Banfulumya, nagenda okuwulira abuuza nti akyagaanye ne bamugamba nti ye era n'alagira banzizeeyo munda mu kaduukulu.

Omukulu oyo namugamba nti ‘ssebo onnanga bwemage sirina kye mmanyi ng'ayongera kuwa biragiro.

Yalina basajja be abaamukoleranga emirimu nga bw'agyagala. Okusinziira ku byantuukako nga okusibibwa obwereere, okuntulugunya n'amaka gange ne gafa, nsaba Amerika eyongere okutaasa ensi.

Nsaba atwalibwe mu kkomera erya Hague abonerezebwe naye ategeere nti buli muntu ayagala obulamu," Bukenya bwe yawunzise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...