TOP

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte

Added 17th September 2019

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya. Nagirinya, eyali maneja mu kitongole ky’obwannakyewa ekya CIDI, yattibwa ne ddereeva we ayitibwa Ronald Kitayimbwa.

 Omugenzi Nagirinya

Omugenzi Nagirinya

Ensonda mu beebyokwerinda baategeezezza Bukedde nti, bwe baabadde banoonyereza ku masimu g'abatemu baakizudde nga baali batera okwogera n'omuwala eyakolako obwayaaya ewa Nagirinya.

Amannya ga yaaya wabula ensonda zaagasirikidde olw'ensonga z'ebyokwerinda kyokka ne bategeeza nti bakola kyonna ekisoboka okulaba ng'ababuulira ku nkolagana ye n'abateeberezebwa okutta Nagirinya.

Kigambibwa nti abatemu bano baasooka kukwana yaaya okusobola okufuna amawulire agaali gakwata ku mugenzi newankubadde nga tewali bukakafu nti okuttibwa kwe yali akumanyiiko. Ono afuuse omuwala owookubiri okukwatibwa ku ttemu lino.

Oluvannyuma lw'okukwata Fortunate Mugisha Ayebare, ekitongole ky'amagye gwe baasooka okukwatira e Kireka.

Kigambibwa nti Nagirinya yali yafunamu obutakkaanya ne mukama we era n'amugoba, kwe kutandika okubeera ne baganda be okuli Berna Nakidde n'abalala.

Mu kiseera kino yaaya akuumirwa ku kitebe kya CMI nga bambega bagezaako okumubuuza ky'amanyi ku kufa kw'eyali mukama we.

Wabula ensonda mu beebyokwerinda zaategeezezza nti nga bwe kyali ku muwala Ayebare, abadde yaakayimbulwa ku kakalu ka poliisi, ne yaaya ono yanditeebwa era n'afuulibwa omujulizi okulumiriza abatemu nti tewannabaawo nnyo bujulizi bwa nkukunala bumulumiriza mu ttemu lino.

BASONZE KU SSENTE

Bambega bagamba nti bye baakajja mu basibe be baakakwata biraga nti ensonga eyattisa Nagirinya yali ya ssente.

"Omutwe omukulu mu ttemu lino ye Kasolo kyokka buli lwe tumubuuza ekyamuttisa omuwala, awoza kimu nti waliwo munne gwe yali naye mu kkomera e Luzira eyamusomera ddiiru y'okuwamba Nagirinya era n'amuwa n'ekifaananyi kye ng'agamba nti yali atera okutambula ne ssente empya n'enkadde," ensonda bwe zaatugambye.

Kino wabula bagamba nti tekibawugudde kuva ku kunoonyereza ku nsonga ndala eziyinza okuba nga ze zaavuddeko okuttibwa kw'omugenzi.

Zino bagamba nti kuliko ey'emirimu n'omukwano." Ensonga endala ze tutunuulidde kuliko okuzuula mu kitongole kya CIDI omugenzi gye yali akolera oba tebaddeeyo nkaayana za mirimu, oba mu ffamire ya bba we Edgar Gateni n'eya ddereeva gwe yattibwa naye Ronald Kitayimbwa."

Bambega era baategeezezza nti abamu ku be bavunaana okutta Nagirinya okuli; Hussain Kasolo amanyiddwa nga ‘Arsenal', Johnson Lubega eyeeyita ‘Rasta', Hussein Kisekka, amanyiddwa nga ‘Masada' n'abalala, beekwasa kimu nti ssente ze baali basuubira mu Nagirinya, ze zaabaleetera okumutta.

"Mukama waabwe Kasolo agamba nti, eyabawa ddiiru yabafalaasira nti ssinga Nagirinya ne munne babeera babategedde nga babatta si kulwa nga babalonkoma aboobuyinza ne babakwata," omu ku bambega bwe yagasseeko.

KATEMBA MU MUSANGO GWA NAGIRINYA

Ebyo nga bikyali awo, bambega bateekateeka okuddamu okukozesa sitatimenti gye baggya ku be baakwata ku by'ettemu lino nga kwe bajja okusinziira okubatwala bagasimbagane n'omulamuzi.

Kino kyaddiridde okutwala Johnson Lubega mu kkooti y'oku City Hall mu Kampala wiiki ewedde kyokka omulamuzi n'agaana okuwulira omusango gwe ng'agamba nti omuntu gwe baali bamuleetedde yali akubiddwa nnyo nga tali mu mbeera nnungi.

Ekyewuunyisa, Kasolo yasooka n'ategeeza nti waliwo omuntu eyali yabatuma okutta Nagirinya, n'abawa ssente akakadde kamu n'ekitundu kyokka naye olwamututte mu kkooti e Makindye, ne yeefuula nti ku by'okutta Nagirinya.

Tewali kya maanyi kyonna era n'ebyemmotoka gye bagamba talina ky'abimanyiiko kuba n'okuvuga takumanyi.

Kino kitegeeza nti Kasolo ne banne bandiba nga baasooka kutulugunyizibwa okukkiriza omusango sinakindi nga waliwo eyabawadde amagezi beefuule kye batali basobole okubakozesa ng'obujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo