TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya ayogedde ebikontana n'ebya Poliisi

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya ayogedde ebikontana n'ebya Poliisi

Added 18th September 2019

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe okukola sitatimenti ne bamulaga ekifaananyi ky’omusajja eyali akwatiddwa afaanana oyo alabikira mu katambi ng’avuga mmotoka ya Nagirinya.

 Mukasa owa bbooda

Mukasa owa bbooda

Agamba nti poliisi y'e Katwe ye yamumulaga ng'emubuuza oba amumanyi nti kyokka ate ono yali wa njawulo ku oyo Hussain Kasolo (Arsenal) poliisi gwe yalaga oluvannyuma nti kkamera gwe zaakwata.

Yagambye nti, ekifaananyi ky'omusajja gwe baamulaga ku ssimu y'omuserikale, yali muddugavu ng'alina emba mpanvu ng'alina n'engeri y'ebirevu ku matama. Yali alabika nga si muvubuka. Agamba omusajja yali muwanvu okusinga ku Kasolo ne mu kifaananyi ekyakwatibwa kkamera za poliisi, alaba ng'omusajja muwanvu.

Lawrence Mukasa owa bbooda avugira ku siteegi ya Lebron Supermarket e Nalumunye mu Jomayi, ye yali atera okuvuga Kitayimbwa buli lwe yavuganga Nagirinya okumuzza ewuwe.

Kitayimbwa bwe yamalanga okutuusa Nagirinya olwo nga naye alinnya bbooda ya Mukasa okuddayo ewuwe e Nalumunye.

Agamba nti Kitayimbwa yamukubiranga essimu n'amusaba okumuwerekerako e Lungujja atwale Nagirinya oluvannyuma ye (Mukasa) amuvuge ku bbooda amukomyewo e Nalumunye.

Mukasa era yagambye nti Kitayimbwa mukulu we.

EBYALIWO LWE BAABATTA

Mukasa yagambye nti, Kitayimbwa yamukubira essimu ku ssaawa 4:31 ez'ekiro n'amubuuza nti, ‘Wooli oba onnyuse?' Agamba yamuddamu nti annyuse ali waka olwo Kitayimbwa n'aggyako essimu.

Yannyonnyodde nti yaddamu okuwulira nga bamugamba nti, Nagirinya yawambiddwa.

BAMUYITA KU POLIISI OKUKOLA SITATIMENTI

Mukasa yagambye nti, bwe batta Kitayimbwa ne Nagirinya, bwe baabayita ku poliisi e Katwe, waliwo ekifaananyi ky'omusajja gwe baabalaga eyali akwatiddwa mu kuziika Nagirinya e Kibuye.

Baali bababuuza oba bamumanyi. Agamba nti, bw'ajjukira omusajja poliisi gwe yabalaga, ne yeetegereza n'ekifaananyi poliisi oluvannyuma kye yafulumya eky'omusajja eyali mu mmotoka ya Nagirinya Spacio UBA 570V ng'ayambadde ekijaketi ekimyufu, alabira ddala ng'omusajja ali mu kifaananyi afaanana omusajja eyali mu kifaananyi kye baabalaga ku poliisi e Katwe, poliisi gwe yasooka okukwata nga tennafulumya kifaananyi kino.

Yagambye nti, abantu abaakwatiddwa okuli Hussein Kasolo eyeeyita Arsenal, Johnson Lubega, Hassan Kisekka ne Nasif Kalyango talina gw'alabako afaanana musajja oli eyali mu kifaananyi poliisi kye yabalaga e Katwe afaanana eyali mu mmotoka ya Nagirinya.

Kyokka omwogezi wa poliisi Fred Enanga bwe yabuuziddwa gye buvuddeko ku ky'abasibe be babakutte okuba nga si be batuufu yagambye nti baakozesezza tekinologiya eyabalaze nti abantu be balina, be beenyigira mu kutemula Nagirinya ne Kitayimbwa.

Yagambye nti, abantu be baakutte, baabatutte mu bifo gye baawambira Nagirinya ne Kitayimbwa, gye baasuula emirambo e Mukono, we baasuula emmotoka ne gye beggyirako ssente ku masimu g'abagenzi nga tebakakiddwa n'agamba nti, obukakafu obwo bubamala okumanya nti abaakwatiddwa be batuufu.

Yagasseeko nti, waliwo abantu abalala be bakyayigga ku musango guno wabula tebalina kubuusabuusa kwonna ku bantu abaakwatiddwa.

FAMIRE YA KITAYIMBWA ERI MU BULUMI

Kitayimbwa yalese abalongo ba myezi etaano gyokka n'abaana abalala basatu abeetaaga obuyambi ne nnyaabwe.

Baagambye nti bennyamivu olwa Gavumenti ne Mmengo 

okukubagizaako famire ya Lubowa yokka ng'ate nabo omuntu waabwe yafiira ku mulimu ng'avuga Nagirinya mu bintu bye yali tamanyiiko.

Mukasa yagambye nti, baagala nabo bafune obwenkanya. Yasabye Gavumenti nti engeri gye kitali kya nkiso nti Kitayimbwa yatemulwa mu bukambwe, eveeyo ekwasizeeko abaana ba Kitayimbwa ne nnamwandu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.