TOP

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera obuzibu'

Added 19th September 2019

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi baagala kumwonoonera linnya n’agamba nti, n’ebizibu byonna by'alina essaawa eno, byatandikira ku kutemulwa kwa Kaweesi.

 Kayihura

Kayihura

Bya MUSASI WAFFE
 
GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n'ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi baagala kumwonoonera linnya n'agamba nti, n'ebizibu byonna by'alina essaawa eno, byatandikira ku kutemulwa kwa Kaweesi.
 
Kayihura twamusanze ku ffaamu ye ku kyalo Katebe e Kashagama ku Lwokubiri ne tuddamu okwogera naye ku bulamu bwe n'okutemulwa kwa Kaweesi okwaliwo nga March 17, 2017 e Kulambiro.
 
Ayogera ku bintu bingi naddala ku by'okuttibwa kwa Kaweesi era yategeezezza nti okusinziira ku bbanga lye yaakaweerereza mu magye, asuubira okugawummula mu December w'omwaka ogujja.
 
Yagambye nti, ajja kusigala ng'aweereza eggwanga ng'ayita mu kulima n'okulunda kubanga kati by'awuliriramu emirembe.
 
EBY'OKUTEMULA KAWEESI
Kayihura agamba nti, baasooka kumwogerako nti, ye yatta Kaweesi omuntu eyali mukwano gwe ennyo kyokka ekirungi Pulezidenti yassaawo akakiiko ne kazuula ekituufu nti ssi ye yatta omugenzi.
 
Yalaze nti abamuwalana, baajingirira ebintu ne babimuteekako ekyaddirira kumukwata ne bongerako n'ebirala bingi bye yagambye nti tayinza kubyogera mu kiseera kino era alowooza nti abantu bano abamukijjanya be bamu abaawadde Amerika ebintu ebikyamu n'emusibako nnatti.
 
Yajjukizza nti waliwo omuvubuka ayitibwa Gabula, eyagenda mu Palamenti n'amwogerako ebintu ebifu naye byonna n'abiyitako nti kyokka ekimuluma, ye Amerika okumusalira omusango nga tesoose kumuyita kwewozaako ku bimwogerwako.
 
Gen. Kayihura yagambye nti bw'ajjukira bwe bajja bakola ne Kaweesi, gamba nga Kkwiini wa Bungereza lwe yakyala wano, nga bakolera wamu era nga buli kimu yakiringamu, yeewuunya okukimuteekako nti yali mu lukwe lw'okutta Kaweesi.
 
 mugenzi aweesi Omugenzi Kaweesi

 

Agamba nti yalina obwesige bungi mu Kaweesi nga ye muntu gw'ateeka awantu n'amwesiga nti, ky'amulagidde ajja kukikola akituukirize bulungi.
 
Yalumirizza nti abatta Kaweesi naye baamuttiramu ate ye yattibwa emirundi ebiri miramba nti naye ekimuwa amaanyi, okunoonyereza kwakolebwa ekituufu ne kizuulwa.Yagambye ntgi ekiseera ky'ayiseemu tekibadde kyangu naye ekirungi akyali musajja muto enkomerero ye ekyali wala.
 
Yalaze okwewuunya ensi gy'eraga nti omuntu assa ekintu ku munne okumusaanyaawo naye tamanyi oba bino bituuka ku ye yekka naye tusaana kwesabira.
 
Yalaze nti akyalina ekitiibwa kye, wadde bazze bamuteekako emisango, akyalina mmotoka ze ezimuwerekera mu kitiibwa, naye kye yeewuunya, lwaki abantu abamukola bino balekebwa ne bagenda mu maaso?
 
Yagambye nti minisita wa Amerika tayinza kumanya bya Nalufenya, oba ebimukwatako kino kiraga nti ababibuulira Amerika bava wano mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo