TOP

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose e Hoima

Added 19th September 2019

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Hoima.

 DPC w’e Hoima, Katumba ng’alwanagana n’abeekalakaasi.

DPC w’e Hoima, Katumba ng’alwanagana n’abeekalakaasi.

Bya GEORGE NIYONZIMA
 
POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky'omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Hoima.
 
Entabwe yavudde ku bantu okukeera okukwata ebipande ne balumba leediyo ez'enjawulo nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe ku kye bagamba nti waliwo ekiragiro ekiyimiriza Nyakato okwogerera ku leediyo eziri mu Hoima.
 
Leediyo ze baalumbye kuliko, Hoima Radio, Spice ne Liberty FM nga bakumba bakutte ebipande ebiriko ebigambo nti, ‘Musumulule Nyakato'. Baabadde bakyatalaaga ekibuga, poliisi n'ebasalako n'ebakubamu omukka n'okuwandagaza amasasi ne babuna emiwabo.
Mu kavuyo ako poliisi yakutte abamu ku baabadde beekalakaasa okuli, Musa Karanzi eyeeyita Shoonman, Ibrahim n'abalala.
 
Okuvuganya okw'amaanyi mu kalulu kano kuli wakati wa Nyakato owa FDC ne Harriet Businge owa NRM.
 
Aduumira poliisi e Hoima, Christopher Katumba yategeezezza nti baakutte abavubuka bana olw'okwenyigira mu kavuyo kano.
 
Okulonda kwakubeerawo nga September 6, 2019 nga balonda okukijjuza okuva eyaliwo okukyusa n'agenda yeesimbawo mu disitulikiti empya ey'e Kikuube.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...