TOP

Ekivvulu ky'Embuutu y'Embuutikizi kyengedde

Added 19th September 2019

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

 Abakozi ba Bukedde Fa Ma n'abatadde ssente mu kivvulu ky'Embuutu y'Embuutikizi

Abakozi ba Bukedde Fa Ma n'abatadde ssente mu kivvulu ky'Embuutu y'Embuutikizi

EKIVVULU ky'Embuutu y'Embuutikizi eky'omwaka guno kyongeddwaamu ebinnonoggo. Buli ayingira ajja kuvaayo n'ebirabo mu ngalo omuli n'okuwangula ssente.

Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106. 8 e Masaka ne 96.6 e Mbarara agamba nti ng'oggyeko okunyumirwa emiziki gy'abayimbi ab'enjawulo abagenda okusanyusa abantu, buli ayingira mu Mbuutu y'Embuutikizi etuumiddwa Meketa eya October 27, 2019 mu kisaawe e Wankulukuku ajja kuvaayo n'ebirabo mu ngalo era akunze abantu okubaayo mu bungi ng'okuyingira kwa 10,000/-.

Eggulo ku Lwokuna abateesiteesi n'abakitaddemu ssente okuli; Jimmy Ssempuuma owa MTN, Dickens Akampumuza owa Pepsi Cola, Nanah Nanyonga owa Lucky3 ssaako aba Uganda Breweries abasogola Bell, baakung'aanidde ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde ne bannyonnyola engeri gye bagenda okusanyusaamu abadigize n'ebirabo bye bagenda okugaba.

 FIYINOLO Y'EKIGWO GGUMBYA

Kabanda yategeezezza nga ku lunaku

lwe lumu kwe bagenda okufuna omuwanguzi w'ekigwo ow'omwaka guno

era ku ssaawa 8:00 ez'emisana wajja

kusookawo fayinolo y'ekigwo Ggumbya ng'omuwanguzi wakusitukira mu kyapa ky'ettaka n'ebirabo ebirala.

 ABAYIMBI ABATO BAGUDDE MU BINTU

Ng'oggyeko abayimbi abanene, abayimbi abato nabo bagenda kuweebwa omukisa okuyimba era abanaasinga okusanyusa abantu bafune ebirabo.

Kabanda yategeezezza nga bwe bagenda okuteekawo enteekateeka ey'enjawuulo okusunsulamu abayimbi abato abanaayimba mu Mbuutu (bajja

kuyitibwa ku kitebe kya Vision  Group) era abanaasinga bannaabwe okwolesa ekitone bagenda kubakwatira ennyimba mu situduyo ne ku vidiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...