TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana bagobye nnyaabwe mu maka ga bba lwa kyapa

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka ga bba lwa kyapa

Added 19th September 2019

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Nnamwandu wa Kasozi, Joyce Nakirya abaana bamugobye mu maka ga bba lwa kyapa

Nnamwandu wa Kasozi, Joyce Nakirya abaana bamugobye mu maka ga bba lwa kyapa

Bya Saul Wokulira

Abaana batabukidde nnyaabwe nga bamulumiriza okukweka ekyapa ku ttaka kitaabwe lye yaleka

Bamugobye mu nnyumba nga bwe bamukomereza obutadda okuggyako ng'aleese ekyapa kyabwe bw'aba abaagaza emirembe.

 abukenya muwala wa akirya agamba baagala kyapa Nabukenya muwala wa Nakirya agamba baagala kyapa

 

N'ebirime omukadde by'alimira ku ttaka okuli kasooli n'ebirala baabifuuyidde eddagala erikaza omuddo ne bikala nga bagamba nti, tebakyayagala kumulabako olw'okwekomya ekyapa.

Bamulumirizza okubuna amalya era nga ye n'abaana abalala be yazaala mu basajja abalala beekobaana ne bavaako olumbe olwatta kitaabwe.

Abaana abawala balumirizza nnyaabwe okulya ente za kitaabwe okuva ng'akyali mulamu okutuuka okufa nga n'ezimu yazitoneranga abasajja abalala mu ngeri y'okwegula obuganzi nga kitaabwe ali ku ndiri.

 akanwagi muwala wa akirya naye amugobye Nakanwagi muwala wa Nakirya naye amugobye

 

Bino biri ku kyalo Kkookotero mu ggombolola y'e Bbaale mu disitulikiti y'e Kayunga.

Omukadde Joyce Nakirya 72, nnamwandu wa Lameck Kasozi abaana be yeezaalira okuli: Viola Nabukenya, Aloysius Mulindwa ne Veronica Nakanwagi be bamubuzizza obwekyusizo ne bamugoba ne mu bintu bya bba.

Nakanwagi agamba nti, kikafuuwe okuddiramu nnyaabwe kubanga yabeefungulira n'abakunamira era wano we baava nabo ne bamutwala ku poliisi ne bamusiba wabula yagulirira n'avaayo.

 utabani wa akirya naye amugobaganya Mutabani wa Nakirya naye amugobaganya

 

Maama naye tatudde asitukiddemu ensonga n'azitwala mu ofiisi ya Collins Kafeero ono nga y'alondoola ebintu by'abafu e Kayunga ne yeekubira enduulu ng'ayagala amuzze mu bintu bye kubanga baabikola babiri n'omugenzi.

Ono yeegaanyi n'okuzaala abaana ebbali era abazzukulu baabadde bamumezeeko nga bamulumiriza n'abakwatira amayinja abakube.

Abaana tebakkirizza kubiwuliriza era beekandaggidde mu lukiiko nti, tebalina kye bayinza kuwuliriza okuggyako nga nnyaabwe ekyapa akitadde ku mmeeza.

 birime abaan bye baafuuyidde eddagala erikaza omuddo nga bagoba nnyaabwe mu maka ga bba Ebirime abaan bye baafuuyidde eddagala erikaza omuddo nga bagoba nnyaabwe mu maka ga bba

 

Omukadde yalombozze ennaku abaana gye bamulabizza okuva bba lwe yafa era nti, abaana be yeezaalira beekobaana ne baggya be okumugoba mu bintu bya bba bye yabonaabonera.

Collins Kafeero, yawadde omukadde amagezi agende mu ofiisi ya Administrator General asabe olukusa ku bintu bya bba okusinga lw'anadda mu kuneneng'ana n'abaana.

 ollins afeero  Collins Kafeero, alondoola ebintu by'abafu e Kayunga

 

Omukadde Nakirya agamba nti, bano abakwasizza Katonda era ng'alumiriza nti, baggya be babawaga bamugobe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.