TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi balumbye Klezia ya Yowana Maria ku Lubaga Road

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana Maria ku Lubaga Road

Added 20th September 2019

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga baagala okubibba omukuumi n’akubako omu amasasi n’akalirawo.

 Owoyesigire

Owoyesigire

Bya JOSEPH MAKUMBI NE LAWRENCE KIZITO
 
ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n'amajambiya nga baagala okubibba omukuumi n'akubako omu amasasi n'akalirawo.
 
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, omubbi eyakubiddwa amasasi ye William Otuke eyabadde ayagala okutemaatema omukuumi eyabadde agezaako okubalemesa okubba.
 
Yannyonnyodde nti, zaabadde ssaawa nga 9:00 ez'ekiro, ababbi basatu ne balumba Klezia okubba.
 
Bano, baabadde bamanyi ebikwata ku Klezia eno n'ebirabo we biterekebwa era baagenze butereevu we baabadde baagala okubba ne bayitira wansi mu mazzi ne batandika okusima bayingire munda.
 
Omukuumi w'ekifo kino, Patrick Odeke, bwe yawulidde enswagiro n'agendawo okulaba olwo ababbi ababiri ne bamugwako ekiyiifuyiifu ne bamukuba agakonde n'esambaggere, nga munnaabwe Otuke bw'asima we baabadde baagala okuyita.
 
Yagasseeko nti, omukuumi w'ekitongole kya Securex eyabadde akuuma ku Acess Building ku Lubaga Road ekiriraanye Klezia olwawulidde mukuumi munne ng'alaajana n'ayanguwa mangu amutaase.
 
Ono yabadde n'emmundu bwe yawulidde akanyoolagano, n'ajja okutaasa.
Mu kiseera kino, Otuke eyabadde asima yavuddeyo ng'agaludde ejjambiya okutema
omuserikale wa Securex eyabadde ayagala okubayimiriza n'amukuba essasi n'akalirawo.
 
Omuserikale olwakubye Otuke essasi, banne ne badduka. Poliisi ya Old Kampala yayitiddwa era omulambo ne baguggyawo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago.
 
Owoyesigyire yasabye abooluiganda lwa Otuke okugenda mu ggwanika e Mulago baggyeyo omulambo.
 
Fr. Joseph Mukasa Nkeera omwogezi w'essaza ekkulu erya Kampala yagambye nti,
ababbi baabadde baagala kubba birabo wabula omukuumi n'abalabuukirira. Ono yagasseeko nti, abantu abasoose okufulumya amawulire baabadde bagamba
nti ababbi baalumbye Klezia y'e Lubaga wabula si bwe gwabadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...