TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abattakisi beegugunze olw'okuggala oluguudo lwa Luwum

Abattakisi beegugunze olw'okuggala oluguudo lwa Luwum

Added 20th September 2019

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko ku bakola oluguudo luno okuluggula basobole okulukozesa.

 Abattakisi nga basindika ekigoma ekyabadde kiteereddwa mu luguudo lwa Luwum Street ku Lwokusatu okusobozesa mmotoka zaabwe okuyingira mu ppaaka.

Abattakisi nga basindika ekigoma ekyabadde kiteereddwa mu luguudo lwa Luwum Street ku Lwokusatu okusobozesa mmotoka zaabwe okuyingira mu ppaaka.

Bya Eria Luyimbazi
ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko ku bakola oluguudo luno okuluggula
basobole okulukozesa.
 
Kino kiddiridde aba kkampuni ya Stirling, ekitongole kya KCCA gye kyapatana okuddaabiriza oluguudo lwa Namirembe Road Luwum Street ku Lwokusatu okuluggala wakati wa Mini Price n'ekizimbe kya Mutaasa Kafeero nga tebakkiriza kidduka
kyonna kuyitamu basobole okukola nga tewali kutaataaganyizibwa.
 
Embeera eno yatabudde abattakisi abakozesa oluguudo luno okuyingira n'okufuluma ppaaka ne bava mu mbeera nga bagamba nti okuggala oluguudo luno nga
teri mmotoka eyitawo kigendereddwaamu okubalemesa okukola.
 
Bano beekunze ne bagezaako okuggyawo ebigoma ebyateereddwa mu luguudo basobole okuyisaawo takisi zaabwe wabula poliisi n'ebalemesa ng'egamba nti tebasobola kutaataaganya mulimu gukolebwa.
 
Akulira poliisi ya Mini Price, Fabiano Baryayamba yakkakkanyizza baddereeva
n'abagamba nti balina okugondera embeera eriwo kuba oluguudo lwabadde lukolebwa
ng'abakozi tebaagala kutaataaganyizibwa kidduka kyonna.
 
Ye Robert Kiyaga owa takisi yagambye nti abakola oluguudo tebaabategeezezzaako
nti bagenda kuluggala.
 
Baalabidde awo nga bataddemu ebigoma nga tebakkiriza kidduka kyonna kulukozesa
olwo ne babasindika okukozesa omulyango oguli ku Ben Kiwanuka gye yagambye
nti wagenda kubaayo omugotteko mungi.
 
"Lwaki baggala oluguudo olumanyiddwa nti takisi ze lukozesa okufuluma ppaaka?
 
Kati gye batusindika okuyita waliwo akanyigo kangi batuleke tuyite wano we
tumanyi," Kiyaga bwe yategeezezza.
 
Wabula poliisi yatudde mu kafubo n'aba takisi ssaako abakola oluguudo ne bakkaanya
okuggula oluguudo kisobozese takisi ezikozesa omulyango gwa Luwum Street okuyingira, embeera n'edda mu nteeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.