TOP

Bakutte eyavuga abaatemula Joan Kagezi

Added 22nd September 2019

AMAGYE gazzeemu buto okunoonyereza ku baatemula Joan Kagezi n’abatta Kaweesi.

 Omugenzi Kagezi

Omugenzi Kagezi

Mu kunoonyereza kuno okupya, bafunye essuubi ery'amaanyi ku musango gwa Kagezi oluvannyuma lw'okukwata omusajja agambibwa okuvuga abatemu.

Omusajja ono oluvannyuma lw'okukwatibwa yakkirizza nga bwe yavuga abasajja abaakuba Kagezi amasasi nga March 30, 2015 ne bamuttira e Kiwaatule we yali ayimiridde okugula eby'okukozesa awaka.

Kagezi we baamuttira ye yali amyuka omuwaabi omukulu owa Gavumenti Mike Chibita era Pulezidenti Museveni olumu yanenya poliisi eyali ekulirwa Gen. Kale Kayihura ku ngeri gye yalemwamu okukwata abatta Kagezi ate nga waaliwo obujulizi obutandikirwako obwali busobola okubatuusa ku mutemu.

Ivan Nkwasibwe 38, omutuuze w'e Bwaise ye yakwatiddwa ab'ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO nga bakolaganira n'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya CMI.

Kigambibwa nti omusajja ono kumpi ye yeewaddeyo mu mikono gya bannamagye oluvannyuma lw'okutya nti abatemu be yatambuza ku bboodabbooda ye baagala kumutta era nga yeetaaga obukuumi obw'amaanyi.

Yagambye nti naye tatidde kusibwa kubanga okusigala ebweru kyabulabe eri obulamu bwe era waakiri abeera mu kkomera okusinga okuttibwa kubanga yatabuse n'abasajja abo b'aludde ng'avuga okubatwala mu ‘minsoni' ez'omutawaana ze bazze bakola.

Nkwasibwe yagambye nti, omulimu gwa bboodabbooda agwerimbikamu bwerimbisi wabula omulimu gwe omukulu mw'aludde ng'afuna ssente gwa kutambuza batemu era olumu bapangisibwa okutta abantu ate olulala bakola ‘minsoni' za kulumba bagagga ne bababba nga bakozesa emmundu era olumu baleka babasse.

Nkwasibwe akuumibwa ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO ng'omu ku bagenda okubayambako mu kunoonyereza n'okukwata bonna abeenyigira mu kutemula Kagezi.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, Nkwasibwe bamulina era byonna by'abannyonnyodde bagenda kwongera okubikozesa mu kunoonyereza ku batta Kagezi.

Gye buvuddeko, Paddy Sserunjogi ‘Sobbi' eyali omubbi era omutemu ow'olulango kyokka nga kati akolagana ne ISO yategeeza nti, amanyi abatta Kagezi era n'abaamutemula, ddiiru baagibaweera mu kkomera e Luzira.

Sobbi okuttottola ebyo yali ku kitebe kya ISO ng'ali ne Dayirekita wa ISO Col. Kaka Bagyenda.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti okunoonyereza ku batta Kagezi ne Andrew Felix Kaweesi kwattukiziddwa olw'abajulizi abaalina okutya, okutandika okuvaayo mpolampola okuwa obujulizi ku batemu.

ISO ne CMI nti bye bitongole by'amagye ebitadde ennyo amaanyi mu kunoonyereza okwo.

ENGERI NKWASIBWE GYE YAYINGIRA MU KIBINJA KY'ABATEMU

Nkwasibwe agamba nti, okubba yakutandikira waabwe e Mbarara ng'akyali muto era gye yayigira n'emmundu mu 2002. Yagambye nti, bwe yajja mu Kampala, yakwatagana n'abasajja Rayton Mukiga n'omulala gwe yali amanyiiko erya Musirise.

Yattottodde nti, mu 2007, balina amaka ge baalumba emisana ttuku e Namasuba, Mukiga ne Musirise nga balina emmundu bbiri ne bayingira mu kikomera ye n'asigala wabweru ku pikipiki ng'abalinze okubazzaayo.

Yagambye nti, banne baali baakayingira, aba VCCU (eyali esikidde Wembley) ne bamuzingako ne bamukwata ne banne abalala abaali mu kikomera nabo ne bakwatibwa.

Agamba nti, bwe baabakwata, baabatwala e Kireka gye baabaggya ne babatwala ku poliisi e Katwe oluvannyuma ne batwalibwa mu kkooti e Makindye ne babasindika ku limanda e Luzira.

Mu kkomera e Luzira, yagambye nti, yali musambi wa mupiira ng'azannyira ttimu ya Barcelona mu kkomera. Eno agamba gye yasanga Afrika Gabula eyali maneja wa ttiimu ya ManU ey'omu kkomera.

Yagambye nti olw'okuba yali muzannyi mulungi, Gabula yatandika okumwogereza amugatte ku ManU.

Awo, agamba we baggya enkolagana n'atandika okumubuuza omusango ogwamusibya naye n'amugamba amazima nti bansibira gwa bubbi era yali amusango agumanyi wadde ku poliisi yali agwegaanye.

Yagambye nti, yamuwa amagezi omusango okugwegaana kyokka bwe baabayita mu kkooti enkulu omusango okutandika okuwulirwa mu 2012, looya wa Gavumenti gwe baali bamuwadde yamuwa amagezi omusango agukkirize amusabire ekibonerezo ekisaamusaamu.

Yagambye nti olwakkiriza nti omusango agumanyi, omulamuzi yalagira azzibwe e Luzira alindirire ekibonerezo kye.

Yagambye nti, waayitawo ennaku nnya ne bamuyita mu kkooti ne bamuwa ekibonerezo kya mwaka gumu n'ayimbulwa kyokka banne abeegaana omusango ne basigala nga bawerennemba.

Bwe yali ava mu kkomera, agamba nti, Gabula yamugamba afune essimu addeyo mu kkomera amuwe ennamba ye.

Yagasseeko nti, yava mu kkomera nga November 20, 2013 ate mu January 2014 n'afuna pikipiki okuddamu okuvuga bboodabbooda mwe yeerimbikanga nga bw'abaza ddiiru z'okubba.

Agamba nti yali ali ku mulimu mu September 2014, ng'avuga akkirira okutuuka ku katale k'e Bwaise n'asanga Gabula ng'atambula n'omukazi era n'abavuga okubatuusa ku poliisi y'e Kawempe we baali bagenda.

Okuva olwo, yagambye nti baasisinkana enfunda eziwera ne Gabula n'amusuubiza okumuyamba ave mu muzigo mwe yali asula ne bboodabbooda agyerabire afuuke muloodi mu Kampala.

Yagambye nti, bwe baakwatagana, Gabula yamutwalira emmundu okugitereka wabula bwe yamutegeeza nti awaka atera okukyazaawo baganzi be, emmundu Gabula n'agikima n'agitwala.

ENGERI GYE BAALUKA OLUKWE OKUTTA KAGEZI

Nkwasibwe yagambye nti mu November 2014, Gabula yamukubira essimu n'amuyita basisinkane ku City Square n'amugulira essimu ne layini ya Orange n'amugamba essimu eyo agikozese kukubira ye yekka.

Mu mwezi gwe gumu, yagambye nti, Gabula yamukubira essimu n'amuyita basisinkane ku Fairway Hotel mu Kampala.

Bwe yatuuka agamba nti, yasangawo abasajja basatu omu yali yakazibwako erya Benz, omusajja omulala eyeeyita Amazon n'omulala gw'atamanyi.

Yagambye nti, Gabula, Benz, Amazon n'omusajja omulala, batuula ne bateesa kyokka ye teyawulira byali biteesebwa kubanga baamutuuza bbali.

Yagambye nti, bonna nga bwe baali, baaliko abasibe e Luzira era bwe baamala okuteesa ebyabwe, ne bamugamba avuge pikipiki agende e Luzira asisinkane omusibe Muhamood gwe baasalira akalabba.

Baamuwa ssente 50,000/- n'akabaluwa akaali kategeeza omusibe abalagirire gye yakweka emmundu kubanga bafunye ddiiru ey'amaanyi. Yayita mu musibe omulala ayitibwa Kyambadde okutuuka ku Muhamood.

Omusibe oyo Mohamood bwe yamala okusoma akabaluwa, olwo ate naye n'awandiika akabaluwa n'akawa Nkwasibwe akaddize Gabula era naye ekyo kye yakola.

Empandiika y'obubaluwa obwo nti yalimu obungodera bungi nga bakozesa olulimi olwabwe, n'obubonero era atamanyi lulimi olwo nga tosobola kutegeera bye bawandiise.

Mu January 2015, nti Gabula yakubira Nkwasibwe essimu n'amugamba agende ku Total e Kitintale akime Amazon.

Agamba nti bwe yamuteeka ku pikipiki, yamulagirira w'alina okuyita era bwe batuuka ku nkulungo y'e Mulago n'amulaga kabangali eyaliko nnamba za Gavumenti ng'esimbye awo era ne bagirinda esimbule.

Amazon nti yagamba Nkwasibwe nti, ‘Emmotoka eyo togiyisa ate tekubulako' era ne bagoberera emmotoka okutuuka e Ntinda nga Amazon ali ku ssimu olwamala n'amugamba awete baddeyo.

BATTA JOAN KAGEZI

Nkwasibwe yagambye nti, nga March 30, 2015, akawungeezi, Gabula yaddamu n'amukubira essimu n'amugamba agende e Kitintale ku Total akime Amazon.

Agamba nti baddamu okuyita mu kkubo lye limu mwe baayita okutuuka ku nkulungo y'e Mulago we baasanga mmotoka y'emu gye baali baagoberera mu January.

Agamba nti Amazon yamutegeeza nti, mu maaso n'emabega balina obukuumi avuge nga taliimu kutya kwonna.

Yagasseeko nti, baalina omuntu eyali ababuulira entambula y'emmotoka eyo ye gwataamanya ne bagigoberera okutuuka e Kiwaatule awali omuti omunene, era nti waliwo omusajja eyali atunda ebibala mu kigaali ne bayimirira okumpi naye, wabula nga Amazon ali ku ssimu bamuwa ebiragiro eby'okumukumu.

Nkwasibwe yagambye nti, zaali zikunukkiriza essaawa 2:00 ez'ekiro, Amazon yadda ebbali n'aggyayo emmundu mu kasawo ke yalina.

Nkwasibwe agamba nti yeetegereza ebusukkakkubo, n'alaba Gabula ng'atambulira ku sipiidi ayolekedde emmotoka eyali esimbye okumpi n'omudaala gw'ebibala era mu kaseera katono nga ne Amazon amwegasseeko.

Nkwasibwe agamba nti yalaba Amazon ng'akuba omuntu eyali mu mmotoka amasasi ate amalala ne bagakuba mu bbanga olwo abantu bonna abaaliwo ne basaasaana nga buli omu adduka okutaasa obulamu.

Amazon yakomawo ng'adduka nti n'abuukira pikipiki n'alagira Nkwasibwe asimbule baveewo mu bwangu.

Yagambye nti, tewali mmotoka wadde pikipiki eyabagoberera nga bavaawo ne bayita mu Ntinda, ne bakkirira e Kisaasi ku Northern Bypass, ne bayita e Kyebando ne bagwa ku Kaleerwe ne badda ku nkulungo y' Mulago ne bagwa ku Yusufu Lule n'azzaayo Amazon e Kiwaatule.

Agamba yadda awaka n'ateekako ttivvi agenda okulaba amawulire nga bagamba nti, abazigu ababadde batambulira ku bboodabbooda basse omuwabi wa Gavumenti.

Enkeera agamba nti Gabula yamukubira n'amusanga ku Shoprite e Lugogo n'amuwa ssente obukadde buna (4,000,000/-) n'amusaba essimu gye yali yamuwa agimuddize era n'agimuddiza.

Agamba nti oluvannyuma yatandika okufuna okutya ng'alaba abasajja abo balinga abamwekengera era nga batandise okumulinnya akagere era kwe kutandika okunoonya abasobola okumuyamba ku nsonga ezo.

Agamba nti yasooka kulowooza ku bakungu mu poliisi, wabula ne bamuwabula nti yeetaaga kusooka kutegeezaako Pulezidenti era n'awandiika byonna by'amanyi n'abiweereza Pulezidenti Museveni mu kiwandiiko kye yaweereza mu December 2018.

Yagambye nti yakimanyaako nti Pulezidenti alina abantu be yalagira okugoberera ensonga ezo; kyokka bwe yalabye abasajja b'alumiriza okutta Kagezi baatandise okumwegezaamu kwe kuweebwa amagezi nti yeeweeyo mu mikono gy'amagye waakiri bamusibe naye nga tattiddwa kibinja kya Gabula ne Amazon! Sobbi bye yayogera omwezi oguwedde, nabyo byetooloolera ku linnya Gabula eyali mu kkomera e Luzira ku misango gy'emmundu.

Sobbi yategeeza nti Gabula yafuna ddiiru eyo nga bali Luzira nti era ne Sobbi ebiseera ebyo yali Luzira.

POLIISI KY'EGAMBA

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga bwe twamutuukiridde okumubuuza ku bigambo bya Nkwasibwe yagambye nti, bye balina mu fayiro yaabwe, si bya mawulire wabula nabo bakola okunoonyereza okukakasa nti abatta Kagezi bakwatibwa bavunaanibwe.

Enanga yagambye nti, ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti yalung'amya era balina okubuuliriza kwe baliko we banaagendera mu lukung'aana lw'okujjukirirako Kagezi mu March w'omwaka ogujja, abasibe abali ku fayiro bajja kuba bamaze okusimbibwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...