TOP

Ssentebe bamulondedde ku mmundu

Added 22nd September 2019

WAABADDEWO obunkenke mu kuddamu okulonda ssentebe w’ekyalo ky’ e Lugala mu zooni ‘I’ mu munisipaali y’e Lubaga amagye ne poliisi bwe baayiiriddwa mu bungi okwewala embeera eyinza okuvaako akalulu okuddamu okuyiika.

 Abaserikale nga bali mu batuuze abazze okulonda.

Abaserikale nga bali mu batuuze abazze okulonda.

WAABADDEWO obunkenke mu kuddamu okulonda ssentebe w'ekyalo ky' e Lugala mu zooni ‘I' mu munisipaali y'e Lubaga amagye ne poliisi bwe baayiiriddwa mu bungi okwewala embeera eyinza okuvaako akalulu okuddamu okuyiika.

Abaavuganyizza baabadde bana nga kuliko; John Bosco Kibalama, Saddam Baluboine, Enock Kamya ne Gonzaga Kabuye kyokka ng'embiranye ey'amaanyi yabadde wakati wa Gonzaga ne Kibalama abaddeko era nga Gonzaga ye yali amyuka Kibalama.

Gye byaggweeredde nga Gonzaga awangudde n'obululu 532 ate Kibalama n'afuna n'obululu 425.

Wakati mu byokwerinda ebyabadde binywezedwa ku ssaawa 4:00 ez'oku makya eyakulidemu okulonda Ezera Ongalia yasoose n'ayogerako eri abantu n'ababuulira ebirina okugobererwa na buli alina okwetaba mu kulonda by'atekedwa okuba nabyo.

Oluvannyuma enteekateeka z'okulonda zaatandise nga zaasoose na kukebera n'okwekenneenya enkalala z'abalonzi era kino kyatutte essaawa ezisoba mu ttaano ekyavudeko n'abamu ku balonzi okwagala okwekyawa olw'okubakalirira mu musana n'okubakandaaliriza wadde nga baakedde.

Ku ssaawa 9:00 abeesimbyewo baalagiddwa okuyimirira mu maaso abalonzi ne batandiika okubasimba mu mugongo era olw'omuwendo naye olw'obungi bw'abantu ab'akakiiko k' ebyokulonda baasazeewo okukozesa abamu ku byebyokwerinda okwetaba mu kubala abantu.

Oluvannyuma akakiiko kaalangiridde Kabuye ku buwanguzi era ne bamuwa empapula eziraga nti akkiriziganyizza n'ebivudde mu kulonda ateekeko omukono kye yakoze kyokka munne Kibalama yagaanye okuteekako omukono ku mpapula zino ne yeekandagga n'abawagizi be n'ategeeza nti, agenda mu kkooti.

Kino tekyalobedde b'akaakiiko k'ebyokulonda okulagira Kabuye okugenda mu maaso n'okulangirira olukiiko lwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...