TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi esuuzizza ababbi ente gye baabadde batambuliza mu Ipsum

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye baabadde batambuliza mu Ipsum

Added 22nd September 2019

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza ente eyasangiddwa ng’efudde nga egambibwa okuba enzibe.

Abaserikale baagambye nti ente eno baabadde bagitwala mu lufula y'oku Kaleerwe kugibaaga.

Abaserikale bano baabadde ku kabangali ya Poliisi nga balawuna ku luguudo lwa Mawanda e Mulago nga badda ku Kaleerwe ngera mmotoka eno yabaddemu abasajja basatu.

Bwe baalabye kabangali ng'ebalemeddeko kwe kusiba mmotoka ne bagibuukamu ne badduka.

Mmotoka yatwaliddwa ku poliisi y'oku Kaleerwe n'ente.

Mu mmotoka mwasangiddwaamu obukebe bw'eddagala erigambibwa nti lye baawadde ente okugikkakkanya.

Era mu kulwana okugiyingiza mu mmotoka endabirwamu emu yayatise ne bateekamu ekikooti. Omusango guli ku fayiro nnamba SD:20/20/09/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...