TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Mayinja ne Kusasira byongedde okulanda: 'Nkyali munyivu'

Ebya Mayinja ne Kusasira byongedde okulanda: 'Nkyali munyivu'

Added 23rd September 2019

MAYINJA ne Kusasira bongedde okweyuza ng’entabwe eva ku byabadde mu kivvulu kya Kusasira ekyabaddeko Pulezidenti wabula Mayinja n’ava ku bye baabadde bakkaanyizza n’ayimba oluyimba olukoona gavumenti mu maaso ga Museveni.

 Pulezidenti Museveni ne Kusasira ku Serena.

Pulezidenti Museveni ne Kusasira ku Serena.

MAYINJA ne Kusasira bongedde okweyuza ng'entabwe eva ku byabadde mu kivvulu kya Kusasira ekyabaddeko Pulezidenti wabula Mayinja n'ava ku bye baabadde bakkaanyizza n'ayimba oluyimba olukoona gavumenti mu maaso ga Museveni.

Olutalo luno kati lutemyemu n'ekibiina kyabwe ekya Golden Band nga bammemba abamu bawagira Ronald Mayinja gwe bagamba nti yabadde akozesa ddembe lye ng'omuyimbi okusalawo okuyimba oluyimba lw'alowooza olunaakwata abawagizi be omubabiro ate abalala nga bawagira Catherine Kusasira.

Grace Ssekamatte mmemba w'ekibiina ye yasoose okutendereza Mayinja nti kye yakoze kya buzira era nti yeetaaga kuwagirwa aleme kukubwa ku nsolobotto wabula abamu ku bammemba b'ekibiina ne badda ku ludda lwa Kusasira nga bagamba nti Mayinja alina naye by'agoba ng'omuntu nga n'olwekyo kikyamu okukola ebyonoona enteekateeka za Kusasira era baagala yeetondere Kusasira ku lw'obulungi bw'ekibiina.

Abawagira Kusasira bannyonnyodde nti Mayinja yamenye endagaano kubanga ekivvulu kino ekyabadde ku Serena mu Kampala ku Lwokutaano kyabadde kya Kusasira era nga y'alina obuyinza obusembayo okusalawo bayimbi ki abanaayimba mu kivvulu kye n'ennyimba z'ayagala bayimbe nga bwe kibeera ku mikolo kw'opangisiza omuyimbi n'omulagira n'ennyimba z'oyagala ayimbireko.

Kusasira munyiivu ng'agamba nti Mayinja yamulabisizza bubi mu maaso ga Pulezidenti ate nga bakkaanya okuva ku ntandikwa ng'ennyimba z'agenda okuyimba za mukwano ssi byabufuzi.

Kyokka ne Mayinja azzizza omuliro n'agamba nti Kusasira yabadde azannya byabufuzi n'atuuka n'okumuggyako akazindaalo ng'oluyimba "Bizzeemu" lwakatandika butandisi.

Mu kivvulu ekyo, Kusasira yabadde akyasengeka olukalala lw'abayimbi ba Golden Band nga bwe balina okuddiriηηana ng'atandikira ku: Mesach Ssemakula, Maureen Nantume…… kyokka Ronald Mayinja teyabirinze n'abasooka mu maaso n'alagira ab'ebyuma basseemu oluyimba "Bizzeemu…"

Endongo yatandise era Kusasira yalabise ng'asobeddwa n'agezaako okulemesa Mayinja okuyimba, wabula Mayinja n'alemera akazindaalo era n'agenda mu maaso n'oluyimba olukolokota gavumenti nga lutegeeza Pulezidenti nti ebyamutwala mu nsiko ne banne okulwanyisa gavumenti ezaavaako, omuli enguzi, obutemu, okutyoboola eddembe, n'ebirala nti ate kati bizzeemu.

Oluvannyuma Kusasira yakolaganye n'abebyuma ne babiggyako era Mayinja n'ava ku siteegi nga bw'atolotooma nti, "Cathy mmwe… ..y'ensonga lwaki temujja kuntegeera…" Mayinja era yalabiddwa ng'akuba Museveni akaama era yagambye nti yabadde akkaatiriza bubaka buli mu luyimba.

NKYALI MUNYIIVU - KUSASIRA

Kusasira yategeezezza Bukedde nti yeewuunyizza nnyo Mayinja okukola ekyo kye yakoze era agamba kyamunyiizizza nnyo kubanga yakirabidde ddala ng'ebigendererwa bya Mayinja bya kumwonoonera mukolo gwe (ogwa Kusasira).

Nga munyiikaavu, Kusasira yalambuludde nti: Awali omulema tofunyizaawo ngalo….., Mayinja yansabye ayimbemu nga Pulezidenti tannaba kugenda mu mutima omulungi ne mukkiriza era y'ensonga lwaki nasabye Pulezidenti alindeko okugenda bakozi bannange mu kibiina bamuyimbiremu nga ndowooza Mayinja agenda kugoberera bye twakkaanyizzaako.

Yannyonnyodde nti bakkaanyizza ng'olukiiko olutegesi ne bakkiriza Mayinja ayimbe ennyimba bbiri okuli: Nnazaalibwa mukazi mwavu ne Njagaza Kajanja era n'abeebyokwerinda bya Pulezidenti y'enteekateeka gye twabategeeza era ne Mayinja nti yasoose kwogera nabo n'abakakasa nti tagenda kuyimba luyimba lwonna lukwata ku byabufuzi; kyokka bonna beekangidde awo nga balaba ayimba "Bizzeemu".

Kusasira yagambye nti Mayinja yamuswazizza nnyo mu maaso ga Pulezidenti era ne gye buli eno akyalowooza ku kye yamukoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....