TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mayinja yeewozezzaako: 'Sirina nsobi gye nnakoze'

Mayinja yeewozezzaako: 'Sirina nsobi gye nnakoze'

Added 23rd September 2019

Mayinja bwe yatuukiriddwa yagambye nti naye yayisiddwa bubi okumuggyako akazindaalo ng’oluyimba yaakalutandika butandisi, ne baggyako n’ebyuma.

Yagambye nti ng'omuyimbi alina eddembe lye okusalawo luyimba ki lw'ayimbira abawagizi be okusinziira ku mbeera ebeera eriwo era eddembe eryo nti lye yakozesezza.

Yalambuludde nti: Nze nabagamba ku bintu bibiri basalewo kimu; okunzikiriza okuyimba oba okuηηaana.

Siyimbira ku bukwakkulizo era ennyimba ze bang'amba okuyimba nnabalaga nti nzigaanye kyokka bbo ne bakitwala nti nja kukolera ku biragiro byabwe.

Yayongeddeko nti: ‘Bizzeemu' naluyimbira mukulembeze wa ggwanga eyabaddewo kati mwagala obubaka obulimu mbugambe b'e Nateete?

Yagasseeko nti: Oyo Kusasira yayiga enkola ya ba NRM abataagala kubuulira Pulezidenti mazima ne badda mu kumulimba n'okumubuuzabuza naye nze wadde yansiseeko akazindaalo saamunyiigidde era namusonyiye kubanga nakitegedde nti yabadde "asika Pulezidenti Eriyo" amulage nti ndi mubi njagala kutabula mukolo gwe.

Ensonga z'ebyobufuzi zitadde Bbandi mu kaseera akazibu oluvannyuma lwa Kusasira okukwata layini ya NRM ate Mayinja n'alondebwa ku ttiimu ekwanaganya emirimu gya People Power mu ttundutundu ly'e Mpigi eritwala ne Gomba East gy'ayagala okwesimbawo mu 2021.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...