TOP

Omuvubuka atemudde muka kitaawe emisana ttuku

Added 24th September 2019

MUTABANI atemyeko muka kitaawe omutwe emisana ttuku n'aleka ekyalo nga kijjudde ensisi.

Eno y'entikko y'obutakkaanya obubaddewo mu booluganda bwe baludde nga balina ku kibanja n'ettaka kwe bali.

Ettemu lino libadde ku kyalo Kyanika B mu ggombolola y'e Kabira mu disitulikiti y'e Kyotera.

Eyattiddwa ye Dimitiriya Nante Nabasumba (59) eyakedde okutwala muzzukulu we ku ssomero e Kyotera Central P/S. Yagenze okudda yasanze abooluganda batudde mu lukiiko okuteesa ku nkaayana ezibadde zaabuluzza mu famire okumala ebbanga.

Ono olwabadde okuva ku bboodabbooda nga n'owabbooda akyaliwo, omuvubuka Francis Namutale 27, mutabani we n'ava mu b'ekika abalala abaabadde batudde ng'akutte ejjambiya n'amutemaatema bwe yabadde agezaako okuggula oluggi lwa ggeeti ye.

Ow'abboodabbooda yakubye enduulu kyokka abadduukirize abaabadde mu lukiiko be basoose okutuukawo era kigambibwa nti baasanze amalirizza okumutta.

Gw'agambibwa okutta abadde amuyita nnyina (Muka kitaawe).

Abadduukirize baamututte mu ddwaaliro e Kaliisizo wabula olwatuuse mu ddwaaliro ne babategeeza nti afudde.

Ssentebe w'ekyalo Godfrey Ssettaba yakakasizza obutakkaanya abantu bano bwe babadde nabwo ku nsonga z'ettaka nga balumiriza Nabasumba ne bba Paul Jjuuko eyafa omwezi oguwedde okubasiraanya.

POLIISI ERIKO B'EKUTTE KU TTEMU LINO

Poliisi y'ekitundu kino ey'e Kifuuta yakwataganye n'abatuuze ne batandika okunoonya omuvubuka gwe baasanze ku ttale n'agezaako okudduka olwo poliisi kwe kukuba amasasi okumuyimiriza okukkakkana nga bamukutte era ne bamutwala ku poliisi y'e Kyotera okumuwonya abaabadde baagala naye okumutta.

Poliisi era yakutte mulamu wa Nabasumba, Muzeeyi Kolofirio Namutale nga kigambibwa nti y'omu ku beetabye mu lukiiko olugambibwa nti lwabadde n'ekigendererwa ky'okutemula Nabasumba.

DPC w'e Kyotera, Rosette Sakamwa yakakasizza ettemu lino n'agamba nti waliwo n'abantu abalala basatu be baakutte ku nsonga eno era bakyanoonya n'abooluganda abawerako abagambibwa nti beetabye mu lukiiko olwabaddewo ng'omugenzi tannatemulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...